Ekitabo kino kyawandiikibwa Shk. Muhammadi Al miin bun Al mukhtaar Alshinqeet, era nga yannyonnyo mukyo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu era nga yabunnyonnyolera munsonga kumi
Ekitabo kino kikwata kunzikiriza shk. Yagendera mukukiwandiika Okukakasa n’okuyimirizaawo obwaggeggere (obwomu) bwa Allah mu Bayibuli nemu Qur’aan eyekitiibwa, era nti obubaka bwaba Nabbi bonna buyimiriddewo kwekyo era nti ne ddiini yabwe bonna eri emu.
Yannyonnyola shk. Nti obusiraamu buyimiriddewo kukwawula allah mubutuufu bwokumwawula, n’okukulera kubivunanyizibwa bwokumwawula, nokkowoola abantu jekuli nga nabi bweyali akola nga enkola ya ibrahiimu bweyali, n’okulwanyisa byonna ebisinzibwa ebitali allah
Shk. Yannyonnyola nti obusiraamu bwava eri allah owekitiibwa era nti buli kikwatagana naye kirina kuba kyakitiibwa, era nga ebuna etuukagana nabuli mulembe nekifo
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti omuddu yenna singa alongoosa enniya ye nassaayo ebirowoozo kwekyo kyakola, Allah amuteeramu obwangu, nemikisa era abeera mukubo lya Allah. Era n’akola ekyennyume kyekyo abeera mu kubo lya Sitaani
Follow us: