EBIFA KU MUZIMU (⮫)


 EBIFA KU MUZIMU

ما يتعلق بالقرين

 ENNYANJULA

"إِنَّ الْحَمْدَ للهِ نَحْمَدُهُ وَنَسْتَعِيْنُهُ وَنَسْتَغْفِرُهُ، وَنَعُوْذُ بِاللهِ مِنْ شُرُوْرِ أَنْفُسَنَا وَسَيِّئَاتِ أَعْمَالِنَا، مَنْ يَهْدِهِ الله فَلاَ مُضِلَّ لَهُ، وَمَنْ يُضْلِلْ فَلاَ هَادِيَ لَهُ، وَأَشْهَدُ أَنْ لاَ إِلهَ إِلاَّ الله، وَحْدَهُ لاَ شَرِيْكَ لَهُ ، وَأَشْهَدُ أَنَّ مُحَمَّدًا عَبْدُهُ وَرَسُوْلُهُ".

“Ebitendo byonna ebirungi bya Allah, tumutendereza ne tumusaba okutuyamba, tumusaba okutusonyiwa era tumusaba atuwonye obubi bw’emitima gyaffe n’obubi bw’ebikolwa byaffe. Oyo yenna Allah gw’aba alungamizza teri asobola kumubuza, era gw’aba abuzizza teri asobola kumulungamya. Nkakasa (mu mutima gwange era ne njatuza n’olulimi lwange), nti (mu biriwo byonna) teri kisinzibwa (mu butuufu) okujjako Allah yekka atalina kimugattibwako, era nkakasa (mu mutima gwange) nti Muhammad (yali) muddu we era Mubaka we”.

"يَاأَيُّهَاالَّذِيْنَ ءَامَنُوْا اتَّقُوْااللَّهَ حَقَّ تُقأتِهِ وَلاَتَمُوْتُنَّ إِلَّاوَاَنْتُمْ مُّسْلِمُوْنَ".(سورة آلُ عمران:۱۰۲ ).

 “Abange mmwe Abakkiriza, mutye Allah mu butuufu bw’okumutya, temutuukibwangako okufa okujjako nga muli Basiraamu”. (Suurat al-Im’raan: Aya 102).

"يَا أَيُّهَا النَّاسُ اتَّقُوْا رَبَّكُمْ الَّذِيْ خَلَقَكُمْ مِنْ نَفْسٍ وَاحِدَةٍ وَخَلَقَ مِنْهَا زَوْجَهَا وَبَثَّ مِنْهُمَا رِجَالاً كَثِيْرًا وَنِسَاءً، وَاتَّقُوْا الله الَّذِيْ تَسَائَلُوْنَ بِهِ وَالأَرْحَامَ إِنَّ الله كَانَ عَلَيْكُمْ رَقِيْبًا".(سورة النساء: آية ۱).

“Abange mmwe abantu, mutye Katonda wammwe oyo eyabatonda ng’abajja mu mwoyo ogumu, era mwe yatonda mukyala waagwo, n’azaalukusa okuva mu gyo (gyombi) abasajja bangi n’abakyala. Mutye Allah oyo gwe musabiragana ku lulwe, Allah kuva dda nga mutunuulizi gye muli”. (Suurat al-Nisaa-i : Aya1).

"يَا أَيُّهَا الَّذِيْنَ ءَامَنُوْا اتَّقُوْا الله وَقُوْلُوْا قَوْلاً سَدِيْدًا يُصْلِحْ لَكُمْ أَعْمَالَكُمْ وَيَغْفِرْ لَكُمْ ذُنُوْبَكُمْ وَمَنْ يُطِعِ الله وَرَسُوْلَهُ فَقَدْ فَازَ فَوْزًا عَظِيْمًا".(سورة الأحزاب: آية ٧۰–٧۱).

 “Abange mwe abakkiriza, mutye Allah era mwogerenga bigambo bituufu, (Allah) abalongooseze emirimu gyammwe era abasonyiwe ebibi byammwe, oyo yenna agondera Allah n’Omubaka we, aba yeesimye olw’esiima lunene”. (Suurat al-Ah’zaab: 70-71).

أَمَّا بَعْدُ :"فَإِنَّ خَيْرَ الْحَدِيْثِ كِتَابُ اللهِ، وَخَيْرَ الْهَدْيِ هَدْيُ مُحَمَّدٍ صَلَّى الله عَلَيْهِ وَسَلَّمَ، وَشَرَّ الأُمُوْرِ مُحْدَثَاتُهَا، وَكُلَّ مُحْدَثَةٍ بِدْعَةٌ، وَكُلَّ بِدْعَةٍ ضَلاَلَةٌ، وَكُلَّ ضَلاَلَةٍ فِي النَّارِ" .

“Ebigambo ebisinga okuba ebituufu kitabo kya Allah, obulungamu obusinga okuba obulungi bulungamu bwa Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama). Ebintu ebisinga okuba ebibi by’ebizuule (mu ddiini), buli kizuule kyonna kiba kigunje, ate buli kigunje kiba kya bubuze, ate nga buli kya bubuze kya muliro”.

(Ebigambo ebyo bye nzivuunudde mu Luganda era bye nfudde ennyanjula y’ekitabo kino, by’ebigambo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bye yagguzangawo okubuulira kwe, wabula tebikola ku kuwoowa kwokka).

 LWAKI NAWANDIIKA KU MUZIMU?

Omuzimu kitondde mu bitonde bya Allah nga ebitonde ebirala. Wabula olw'okuba abantu tebagutegeera  bulungi, kyabatuusa okugwa mu nsobi zino wammanga:

1.     Okulowooza nti omuzimu gwe mwoyo gw'omuntu (naddala Abaganda).

2.     Okulowooza nti omuntu bw'afa omuzimu gwe gubeera Ttanda (mu Ssingo).

3.     Okulowooza nti omuzimu tegufa.

4.     Okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w'abantu nagwo (naddala ab'ekika ekimu nagwo).

5.     Okulowooza nti gumala ebizibu ebiba mu kika.

6.     Okulowooza nti emizimu gyonna Mikaafiiri!

7.     Okulowooza nti mwoyo mutukuvu alinnya ku mitwe gy'abantu!

8.     Okulaga ‘Abasiraamu’ nti okuleeta ‘zikiri‘ n’ofuna jazbah oba olinnyiddwa majiini. Soma ku mutwe ‘Abasiraamu abamu basinza emizimu’ mu kitabo kino.

Ebintu ebyo nga bwe mbimenye waggulu, ddala abantu bangi bwe batyo bwe babitwala omuli n'Abasiraamu abamu.

Akabi akali mu kulowooza nti omuzimu gwe mwoyo, kwe kuba nti kiviirako abantu okulowooza nti teriiyo kuzuukira era teriiyo muliro na Jjana. Anti baba balaba nga omuzimu (bbo gwe batwala nti gwe mwoyo), omuntu bw'afa gubeera ku byagwo, so ssi mu Jjana yadde mu muliro nga Allah bw'akyogerako.

Mu ngeri y'emu okulowooza nti omuntu bw'afa omuzimu gwe gubeera Ttanda, kiba kimenyawo ekimanyikiddwa obulungi era kye tulabako n'amaaso gaffe nti omuzimu gubeera we guba gwagadde, okusingira ddala ku bisigalira by'omufu.

Ate akabi akali mu kulowooza nti omuzimu tegufa, kiba kimenyawo Omubaka (swalla  Llaahu alaihi wasallama) kye yagamba nti '…amajiini n'abantu bifa' nga bwe tunaalaba mu maaso eyo in-sha-Allah, ate nga omuzimu kika kya majiini.

Ate okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w'abantu n'emizimu, kiviiirako abantu okukola shiriki olw'okwagala okussaawo enkolagana eyo. Singa Allah yali ayagala tukolagane n'emizimu oba n'amajiini, teyaalibitukwese.

Ate okulowooza nti omuzimu gumala ebizibu by'abantu, ekyo kiviirako abantu bangi okuddukira mu bigali oba mu masabo nga bafunye obuzibu ne bataddukira eri Allah, ate nga ekyo kikaafuwaza omuntu.

Ate okulowooza nti emizimu gyonna mikaafiiri nti era ze sitaani ekyo nakyo kikyamu nga bwe tunaalaba mu maaso eyo, kubanga ekya mazima kiri nti obwa sitaani eba nneeyisa ya kitonde so ssi buttonde bwakyo. Engeri gye kiri nti kikyamu okukaafuwaza atali mukaafiiri, mu ngeri y'emu kiba kikyamu okukaafuwaza buli muzimu  ne bwe gutaba mukaafiiri.

Ekisembayo mu kabi akali mu butategeera kitonde muzimu, kiviiriddeko abantu bangi mu madiini amalala obutamanya nti ekibalinnya ku mitwe nga 'basaba' giba mizimu so ssi mwoyo mutukuvu.

Ndayira Omutonzi w'ebitonde oyo Abasiraamu gwe bakkiriza ate Abakaafiiri ne bamuwakanya, nti ekirinnya abantu abo ku mitwe gyabwe ssi kirala wabula giba mizimu na majiini! Ekyo kiva ku kuba nti abantu  abo baabuwe tebamanyi mizimu. Kya nnaku nti ekitimba kya sitaani kino kyazingiramu n'abamu ku baali Abasiraamu nga bwe tunaalaba wansi w'omute ('Abasiraamu' abamu basinza mizimu).

N'olwekyo ezo z'ensonga ezantuma okuwandiika ku muzimu, ate nga nsonga nkulu nnyo nga naawe omusomi bw'olaba. 

 OMUZIMU KYE KKI?

Buli muntu yenna azaalibwa, ka babe Bannabbi ba Allah (awatali kwawulamu), buli omu azaalibwa nga Allah amutondeddeko ekitonde eky’omu majiini n’ekitonde eky’omu malayika.

Ekitonde ekyo eky’omu majiini kiyitibwa ‘qariinu’ mu Luwalabu, mu Luganda  ‘muzimu’ ate mu Luswayiri kiyitibwa ‘ruhani’.  Wabula amawulire agafa ku kitonde eky’omu malayika  Allah yageesigaliza.

Ekigambo omuzimu mu Luganda, kigambibwa nti kyasalwako busalwa, nti okukimalayo edda kyayatulanga omuzzi-mu-muntu. Kigambibwa nti kyasalwako busalwa nga kiyitiridde obuwanvu naddala eri abo aboogera banguyiriza. Era kigambibwa nti olw'okuba baalowoozanga nti 'gudda' mu muntu omulala, nti kye guva gwayitibwanga omuzzi-mu-muntu!

Mu Luwalabu okuguyita qariinu, kyazimbibwa ku makulu amalala agali mu kigambo ekyo. Ekigambo ekyo amakulu amakulu gaakyo amalala mu okusooka kyali kitegeeza munno ow'omunda ennyo olumu ayitibwa omunywanyi! Era mu makulu ago, Allah yakikozesa mu Qur’an mu bifo eby'enjawulo abantu abamu ne balowooza mu bukyamu nti yali ayogera ku muzimu.

Eky'okulabirako, Allah yakikozesa mu (Suurat al-Sswaaffwaat: Aya51) ne mu (Suurat Qaaf: Aya 23). Mu Aya ezo zombi Allah okwogera ku qariin yali tategeeza muzimu; yali ategeeza munywanyi     -ekitegeeza mukwano gw'omuntu ow'omunda ennyo.

Mu Luwalabu omuzimu okuguyita qariinu ekitegeeza omunywanyi, kyazimbibwa ku kuba nti omuzimu n'omuntu kwe guba gwatondebwa baba banywanyi nnyo. Okumanya baba banywanyi ekigenze ewala, gukoppa buli kantu ku muntu oyo, omuli okumukoppako amannya ge, eddoboozi lye, enneeyisa ye, eddiini ye n'ebirala bingi nga bwe tunaalaba mu maaso. 

Olw'okuba ago ge gamu ku makulu g'ekigambo ekyo, bbo Abawalabu omukyala w'omuntu, naddala owa kabaka (Naabakyala) naye bamuyita qariinatu ekizaalukuka mu qariinu.Era ekigambo إِقْتِرَانُ))–soma 'iq'tiraanu' ekitegeeza okwetabika, nakyo kyazaalukuka mu kigambo qariinu, nga ekibigatta kwe kuba nga n'omuzimu (qariinu) nagwo gwetabika n'omuntu mu mubiri gwe.

Omuzimu ogwo kye kitonde olumu ekitera okulumba abantu, era olumu kyeyitira ddala erinnya ly’omufu era n’okwogera kyogerera ddala mu ddobozi ly’omufu. Ekitonde kino kya njawulo nnyo ku mwoyo nga bwe tunaabiraba mu maaso eyo, era eba nzikiriza nkyamu okulowooza nti ekitonde ekyo gwe mwoyo gw'omuntu.

Omuzimu nagwo gufa nga ebitonde ebirala bwe bifa era ensonga eno nja kigikkaatiriza nnyo mu maaso eyo in-sha-Allah wansi w'omutwe 'Omuzimu nagwo gufa'.

Ekitonde ekyo olumu kibeera mu muntu mwennyini ate olulala kyekuumira  nnyo ku kintu kyonna eky’ekuusa ku mubiri gw’omuntu oyo. Bw’aba mulamu, olumu kyagala nnyo okubeera awaba ekintu kyonna ekyekuusa ku mubiri gw’omuntu oyo - engoye ze, enviiri z’aba asaze oba enjala ze.

Olw’okuba abalogo bamanyi nti omuzimu ogwo gwekuumira nnyo ku bintu ebyo, baba bamanyi nti essaawa yonna gusobola okubiddako ne bagukwatirawo nga beeyambisa amajiini gaabwe basobole okutuusa obulabe ku nnyinigwo. Obulabe bwonna obutuuka ku muzimu, buba bukosa butereevu omuntu gwe guliko. Abalogo bayinza okukusaba olugoye lw’oyo gwe baagala okuloga, enviiri ze oba enjala ze olumu basaba n’ettaka w'aba  yalinnye.

Omusajja Omuyudaaya ayitibwa  Labiid bin al-A’aswam bwe yali ayagala okuloga Nnabbi Muhamaad (swalla Llaahu alaihi wasalaama), yeeyambisa buviiri bwa kisanirizo kye.

Ekyafaayo ky’okulogebwa kwe kyannyonnyolwa bulungi mu kitabo kya Haddithi  ekya (Swahiih al-Bukhaar).

Baba bakyamu abeerippa ku mbeera eyo, ne bagamba nti sitaani yasinza Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasalaama) amaanyi! Ekituufu Allah yali amugezesa bugezesa ng’era bwe yegezesa Nabbi we Ya’aquub (Yobu), kubanga naye ekigezo kye Allah yakiyisa ku sitaani. Soma (Suurat Swad: Aya 41).

Bayibuli nayo bw’etyo bw’ekiraga, ne wankubadde  kirabikamu engeri y’okusavuwaza, anti egamba nti Yobu ‘yaddiranga olujjo ne yeeyaguza omubiri gwe n’atuuka  n’okutuula mu vvu eryamuvangako’! Soma (Yobu 2: 8).

Newankubadde eddogo Omubaka (swalla-Llaahu alaihi wasallama) lyamukwata era ne limukosa, naye tekyava ku kuba nga yali  ‘alegezza’ mu ddiini ng’olumu bwe guba ku ffe. Allah yye kennyini ye yaleka embeera eyo ebeerewo ng’ayagala okumugezesa n’okutulaga nti naye yali muntu nga ffe, mpozzi n’okutuyigiriiza nti singa omuntu aba alogeddwa yejjanjaba atya?

Olulala omuzimu gubeera wabweru wa mubiri gwe, wabula bwe gubeera wabweru w’omubiri olumu gutera okumwesuula akabanga naye oluvannyuma ne gudda mu mubiri. Omuntu bw’afa, gubeera nnyo awali ebisigalira by’omufu.

Ekitonde ekyo abalogo olumu basobola okukikwata ku muntu nga beeyambisa amajiini gaabwe nga baagala okukutuusako obulabe, oba okukyogeza ebyama byo. Wabula ekyo tebasobola kukikola okujjako nga weebase.  Olw’okuba ekitonde ekyo kyagala nnyo okubeera awali ekintu kyonna ekyekuusa ku mubirigwo, abalogo kye bava bakyeyambisa okulogerako abantu.

Ewamu n’okuba nga omuzimugulina akakwate k’obuzaale n’omuntu, naye teri jiiini lirina kakwate konna na Allah. Ekiyunga ejjiini ne Allah (oba akakwate wakati w’ejjiini ne Allah), kiri kuba nti Allah ye Mutonzi, ate ejjiini kitonde kye

Nga Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) tannatumwa, Abawalabu bangi baalina endowooza egamba nti Allah alina oluganda ku majiini era enzikiriza eyo Allah yagivumirira nyo mu Quraani n‘agamba nti:

] وَجَعَلُوْا بَيْنَهُ وَبَيْنَ الْجِنَّةِ نَسَبًا، وَلَقَدْ عَلِمَتِ الْجِنُّ أَنَّهُمْ مُحْضَرُوْنَ[ (سُورَة الصَّافَاتِ : آية ۱٥۸).          

“Era baateekawo wakati we (Allah) ne wakati w’amajiini olulyo so nga amajiini gamanyi nti ddala ga kuleetebwa (mu maaso ga Allah). Allah yayawukana n’ebyo bye boogera”. Soma (Suurat al-Swaaffaat: Aya 158)!

 OBUJULIZI OBULAGA NTI BULI MUNTU ALIKO OMUZIMU

Swahaba ayitibwa Ibn Mas’uud (Allah amusiime) yagamba nti, Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yagamba nti:

[عَنْ ابْنِ مَسْعُوْدٍ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: قَالَ رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: مَا مِنْكُمْ مِنْ أحَدٍ إلاَّ وُكِّلَ بِهِ قَرِيْنُهُ مِنَ الجِنِّ وَقَرِيْنُهُ مِنَ المَلاَئِكَةِ. قَالُوْا: وَإيَّاكَ يَا رَسُوْلَ اللهِ؟ قَالَ: وَإيَّايَ، إلاَّ أنَّ اللهَ أعَانَنِيْ عَلَيْهِ فَأسْلَمَ وَلاَ يَأْمُرُنِيْ إلاَّ بِخَيْرٍ]. (رَوَاهُ مُسْلِمُ)

 “Teri muntu yenna mu mmwe okujjako nga yassibwako munne mu majiini ne munne mu Malayika. Baamubuuza nti: Omubaka wa Allah n’awe? N’agamba nti: Nange, wabula nze Allah yannyamba ku (kitonde) ekyo ne kigyemulukuka, era tekindagira okujjako birungi byereere”. Soma (Swahiih Muslim: 17/157) eriko okunnyonnyola kwa Imaam Nawawi 631-676 HJ.

Mu Hadiithi eyo waggulu, Nabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama) gw’ayise ‘munno’ mu majiini, abamanyi mu Busiraamu baakyegattako nti kye kitonde ekiyitibwa qariinu mu Luwalabu ffe wano e Buganda kye tuyita omuzimu. Hadiithi eyo eraga nti buli muntu aliko omuzimu.

Abantu abamu mu butamanya beegaana nti tebaliiko muzimu. Olw’okuba emizimu abantu bagimanyidde mu kutuga bantu, balowooza nti ke bakkiriza nti gibariko, bajja kuba beelaze nti nabo bakyamu! Omuzimu kitonde ekyatutonderwamu nga bw’olaba omwoyo bwe gwatutonderamu.  Ekigamba nti omuzimu ye ‘mwana’ ajja oluvannyuma nga omukazi amaze okuzaala, ekyo si kituufu n’akatono.

OMUZIMU GUSOBOLA OKUSIRAMUKA?

Okusinziira ku njigiriza y’Obusiraamu, amajiini nago galina enzikiriza nga ez’abantu. Mugo mulimu Amasiraamu n’agatali Masiraamu (amakaafiiri). Olw’okuba emizimu nagyo kika kya majiini nga bwe twakirabye emabega, twagala tulabe oba mugyi namwo mulimu Amasiraamu.

Dr. Umar Sulaiman al-Ash’qar mu kitabo kye [عَالَمُ الْجِنِّ وَالْمَلاَئِكَةِ]  ekitegeeza nti ‘Ensi Y’amajiini  ne Malayika’ yagamba bwati:

 قال الدكتور عمرالأشقر:[وَقَدْ يَصِلُ الأمْرُ أنْ يُؤَثِّرَ المُسْلِمُ عَلَى قَرِيْنِهِ المُلاَزِمِ لَهُ  فَيُسْلِمَ]. انظر (عالم الجن والملائكة).

 “Embeera eyinza okutuuka ku kuba nga Omusiraamu ayinza okukyusa omuzimu gwe ogumubeerako ne gusiramuka”.

Dr.Umar ategeeza, nti ssinga Omusiraamu yeeyisa bulungi mu ddiini, asobola okugonza omuzimu ggwe ne  gujeemulukuka oba ne gusiramuka.

Ewamu n’okuba nga yye bw’atyo bwe yagamba, naye mukugu munne mu bitonde bino enzaalwa y’e Misiri, Sheikh Abdul Ssalaam Waheed Baali ye teyakkaanya naye. Mu kitabo kye (al-Wiqaayat: olup.39) yawakanya ekigamba nti omuzimu gusobola okusiramuka. Mu kukiwakanya yawa ensonga ssatu, era ze zino wammanga:

1.     Okusiramuka kw'omuzimu ekyo kyeyawulidde Nnabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) kubanga Hadiith yakyasanguza kaati bw'etyo.

2.     Yazzaako nti olaba ne Umar (Allah amusiime) eyali omusigire wa Nnabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) ow’okubiri teyasobola kusiramula muzimu  gwe, olwo butya ffe abantu ba bulijjo?

3.     Yasembyayo ekigamba, nti singa Omusiraamu yenna atali Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) yali asobola okukyusa sitaani ye n’esiramuka (ategeeza omuzimu gwe), nti ekigenderelwa kya Allah eky’okugezesa abaddu be tekyalisobose kutuukirira.

Ezo z’ensonga essatu Sheikh Abdul Ssalaamu Waheed Baali ze yawa ng’awakanya ekigamba nti omuzimu gusobola okusiramuka.

 Okulaba kwange

Mu kulaba kwange, wabula nga Allah y’asinga okumanya ekituufu, ndaba nga ensonga ya Dr.Umar ey’okuba egamba nti omuzimu gusobola okusiramuka-ndabanga erimu eggumba. Ngamba bwentyo, kubanga ensonga essatu Shk. Abdu Ssalaam Waheed ze yawa zisobola okwanukulwa bwe ziti:

Ø Mu kutegeera kwange, Hadiithi eyo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) muyo yali akkaatiriza bukkaatiriza nti buli muntu aliko omuzimu. Mu kugamba nti ogugwe tegumulagira okujjako birungi byereere, mu kulaba kwange tekiggwayo nti ogw’omulala gumulagira bibi byereere. Mu kulaba kwange kiggwayo nti olumu ogw’omulala gusobola okumulagira ebibi ate olulala ne gumulagira ebirungi. Ekyo nja kukiwaako obujulizi obw’obuntu.

Ø Ekya Umar (Allah amusiime) okuba nga sitaani zaali zimutya ekyo kituufu,  kubanga ne bwe yakwatanga ekkubo lino nga zzo zikwata ddala. Wabula sitaani ezaali zimutya si gwe muzimu gw’omuntu, kubanga sitaani n’omuzimu   bitonde bya njawulo nga bwenja okukiraga mu maaso eyo in-sha-Allah.

Ø Singa ddala ebigezo Allah by’awa abantu yali abiyisa ku muzimu gwa muntu nga Sheikh bwe yakisiinyaako, kyalibadde kitegeeza nti ne Nabbi (swalla llaahu alaihi wasallama) Allah teyamugezesanga,kubanga ogugwe gwali gwasiramuka! Engeri gye waliwo obujulizi nga naye Allah yali amugezesa, ekyo kiba ky’ongera okulaga nti ensonga ya Sheikh Waheed ey’okusatu ekyeetaaga okwekenneenyezebwa ennyo!  Obujulizi obuliwo bulaga nti Allah ebigezo bye abiyisa ku mitima egibeera mu bifuba by’abantu! Soma (Suurat al-Naas: Aya 4), so ssi ku mizimu gyabwe.

Ø Eky’enkomeredde ku nsonga eyo, obujulizi obw’enkukunala weebuli obulaga nti waliwo omuzimu  Omusiraamu era nga bwe buliwo nti waliwo n'ogutali. Singa omuntu afa nga Musiraamu n’omuzimu gwe guba Musiraamu, wabbula bw’afa nga si Musiraamu, era n’omuzimu gwe gusigala ssi Musiraamu.

Ekituufu kiri nti enneeyisa y’omuntu y’eba enneeyisa y’omuzimu gwe; bw’aba mulongoofu nagwo guba mulongoofu bw’aba mwonoonefu era nagwo guba mwonoonefu. Ewamu n’ekyo, ate ekituufu kiri nti omuntu bw’amala okufa omuzimu gwe ne gusigala nga mulamu, olw’okuba guba tegukyali mu muntu gwe kukoppako nneeyisa, gwo gusobola okukyusa enneeyisa yaagwo; ogutabadde Musiraamu ne gusiramika oba ogubadde Omusiraamu ne gukaafuwala, naye nga kino ekisembyeyo tekitera kubaawo era nga bwe guli mu bantu!

Singa tutwala ekigamba nti omuzimu tegusobola kusiramuka, kijja kuba kitegeeza nti singa omuzimu ogutali Musiraamu gulumba omuntu, tewaba bwetaavu kugubuulirira gusiramuke. Naye abaffe bwe gutyo bwe guli? Nedda nedda!

Olw’ensonga eyo n’endala ennyingi ze ndeseeyo, nze ndaba nga  omuzimu gusobola bulungi okuba Omusiraamu singa omuntu kwe guba nga aba Musiraamu oba nga amaze okufa. Ekitasoboka, gwo kwe kusiramuka ng’ate omuntu kwe guli ssi Musiraamu, ate ng’akyali mulamu.

Nga bwe kiri nti emizimu ‘gikoppa’ ku muntu buli kimu, omuli amannya ge, olulimi olw’ogerwa, okwekuumira mu lulyo lw’omufu n’okwogera eddoboozi nga ery’omufu, ekituufu kiri nti tegusobola kukoppa ebyo byokka ne gutakoppa nzikkiriza ye oba eddiini ye!

Ekintu kye tulabako n’amaaso gaffe tekiyinza kukoonagana na Haddithi okujjako nga Haddithi yeetegereddwa obubi, oba nga kye tulabye tukirabye mu bukyamu. Nsaba Allah asonyiwe bwe mba nze ndabye obubi era asonyiwe ne Dr. Umar, naye nga nkyalaba nti omuzimu gusobola bulungi okuba Omusiraamu in-sha -Allah.

 OMUZIMU GWEKUUMIRA NNYO MU LULYO LW'OMUFU

Twakirabye nti omuntu bw’afa, omuzimu gwe gwekuumira nnyo mu kika ky’omufu oyo. Olw’okuba omuzimu gubeera mu muntu, ate nga omuntu oyo aba n’olulyo mwe yava, nagwo gwetwala nga 'memba' mu kika ekyo. Eky’okuba nga emizimu egimu tegidda mu bantu ne gyogera nabo, ekyo tekitegeeza nti tegibaayo oba nti tegiba mu kika ekyo. Emizimu egyo Abaganda gye bayita ‘mpewo z’ekika’!

Singa omuntu  abadde atambulira ku ndagu, bw'afa ebiseera ebisinga omuzimu gwe gumanyi okulagira abantu b’ekika kyu’omuntu oyo okuguzimbira essabo oba okuguteerawo ebigali. Embeera eyo bwetuukanga ku Musiraamu, aba ateekeddwa obutagonderanga ‘sitaani’ ezo.

Era ekyo kiraga obukyamu obuli mu kuwasa oba okufumbirwa omuntu atambulira ku ndagu, kubanga bw’afa omuzimu gwe gusigala guyigganya abatagukolera bye gwagala, ne bwe baba baana ba mufu bennyini. 

Wabula singa omuntu afa nga tatambulira ku ndagu, omuzimu gwe tegudda kuyigganya balamu, olumu ne bwe guba nga ssi gwa Musiraamu, kuba mu batali Basiraamu mulimu abatambulira ku bya ndagu, nga bbo shiriki waabwe bamukolera mu birala, omuli okzaaza Allah n'okugamba nti bali basatu!

Singa omwami omufumbo afa n’aleka nnamwandu, nga omufu oyo yali atambulira ku ndagu, olumu omuzimu gwe gutera okusumbuwa nnamwandu oyo nga gwagala 'okwegatta' naye mu nsonga z’obufumbo nga guyita mu kumuloosa. Gwo gusigala gukyamutwala nga mukyala waagwo. Ekyo kyongera okulaga obubi bw’okufumbiriganwa n’omuntu atambulira  ku ndagu, kuba kiba kuleeta byokoola waka!

Singa omukyala oyo asalawo okufumbirwa, omuzimu ogwo gumanyi n’okumukuulamu embuto, nga buli lubuto lw’afuna gutuga ekyana nga kyakatondeka. Wabula singa omukyala oyo aba muti wa Allah, Allah bw’aba tayagadde kumugezesa, amuwa obukuumi n’atakosebwa muzimu ogwo.

Singa omuntu yenna omufumbo afiirwako munne n’afuna obuzibu ng’obwo, tasaanidde kukola bya 'kiganda' bye ssaagala kwasanguza wano, wabula aba alina okuyitiriza okwekuumira mu kutya Allah n’okumutendereza ennyo, bwe kiba kyetaagisizza ayinza n’okusomererwa Ruq’ya!

Ekirara singa abafumbo bombi bafa, olumu emizimu gyabwe gisigala nga giri mu 'bufumbo' bwagyo. Nina gwe nnali nsomerera Ruq’ya ne kizuluwa nga omulwadde yali alumbiddwa emizimu ebiri, era Allah bwe yagera ne gyogera, gyalaga nti nga ‘bannyini gyo’  tebannafa, baali bafumbo, nti era oluvannyuma lw’okufa kwabwe gyo gyasigala mu bufumbo bwagyo! Omulwadde oluvannyuma yakakasa nti kituufu ‘abo’  baali ba luganda lwe.

Emabega  nnagambye nti emizimu gy’abafu gy’agala nnyo okwekuumira mu lulyo abafu mwe baalinga bava. Kiwanuuzibwa nti emizimu egyo  gigezaako n’okulwanyisa amajiini oba emizimu emirala egiba girumbye omu ku bantu b’olulyo olwo. Era kiwanuuzibwa nti ekyo tekyeyawulidde  mizimu gya batali Basiraamu gyokka.

Ekintu ekyo sijja kukiwakanya yadde okukikkiriza, wabula ngamba nti bwe kiba kituufu, kuba kugatta ku Allah kintu kirala (shir’k) singa ofuna obuzibu, mu kifo ky’okuwanjagira Allah ate n’osaba mizimu egyo. Kiringa bwe tugamba nti Malayika za Allah zisobola okutaasa omuntu aba alumbiddwa amajiini naye ate ne tutagamba nti kikkirizibwa okuzisaba zitudduukirire. Gwe sabanga Allah yekka, ye alabe w’anaayisa okutaasa kwe.

Ewamu n’okuba nga emizimu gy’abafu gyagala nnyo okwekuumira mu bika by’abafu, naye mingi mugyo egitaagala kuggulawo nkolagana n’abantu abakyali abalamu mu bika ebyo oba n'abantu abalala. Kino kizingiramu egy’Abasiraamu n’egitali gy’Abasiraamu.  Abatali Basiraamu, amazima gali nti mubo mulimu abatatambulira ku bya ndagu, nga shir’ki waabwe alabikira mu birara; ng’okusinza ebifanaanyi oba ebitonde ebirala, omuli Nabbi  Isa, maama we Maliyamu n’abo be bayita ‘Abatuukirivu'!

 EMIZIMU  GYEKUUMIRA NNYO KU BISIGALIRA BY’OMUFU

Eky’okuba ng’emizimu gyagala nnyo okwekuumira mu bika by’abafu, tekijjaawo kigamba nti era gyagala nnyo n’okwekuumira ku bisigalira by’omufu oba ku kintu kyonna ekiba kirina akakwate n’omufu, nga engeye ze n’ebirala. Abantu bangi tebamanyi nti ebisolo, ebinyonyi n’ebiwuka nti nabyo biba n’emizimu ng’abantu.

Ekituufu kiri nti buli kitonde ekirina omwoyo  era kiba n’omuzimu.

Singa omuntu afa, kye kimu aziikiddwa oba taziikiddwa, wonna awaba ebisigalira bye, era we watera okwekuumira omuzimu gwe. Ekyo kye kivaako abantu abamu abattirwa ne batamanyibwa mafiire gaabwe emizimu okulinnya ku mitwe gy’abantu baabwe abalamu, oba ne gibaloosa nga gibalagirira awali ebisigalira ebyo.

Wabula emizimu gy’abo abatatambulira ku ndagu, ne bwe baba ‘banyinigyo’ tebaabaziika, tegisoobola kudda kukwata balamu kubalaga wali bisigalira. Era kikolwa kya kkivve  nnyo mu Busiraamu  okusamira oba okugenda mu ‘basawo’ nti bayite omuzimu gw’omufu, oba ne beeyambisa egyabwe oba amajiini gaabwe nti gikulagirire ewali omufu waabwe.

Olumu emizimu gikwata abantu ne gibategeeza nti ‘ndi eno empewo enfuuwa n’enkuba enkuba mujje munziike’! Ekituufu empewo ekunta teyinza kufuuwa ‘mpewo’  ya muzimu, wabula gyo giba gyagala abantu baziike ebisigalira ebyo!

Ewamu n’ekyo, singa embeera eyo eba ebaddewo omuzimu gw’omufu ne gubalagirira awali ebisigalira by’omufu, era ne mwekakasa  nti ddala ebyo bye bisigalira by’omufu,  tekigaana kuziika mufu oyo. Ekyo mukikola lwa kussa mu nkola enjigiriza  y’OBusiraamu ey’okuziika abafu, wabula si lwa kuba muba mulagiddwa omuzimu.

 OKUTUULA KU MALIBA G’EBISOLO EBIKAMBWE TEKIKKIRIZIBWA

Olw’okuba n’ebisolo nabyo biba n’emizimu, era nagyo okufanaanako n’omuntu singa ekisolo kifa omuzimu gwakyo gwagala nnyo okwekuumira awali ebisigaalira byakyo. Ekyo nga bwe kiri ku muntu era bwe kiri ku nsolo, era bwe kiri ne ku binyonyi ne ku biwuka.

Singa ekisolo ekifudde kibadde kikambwe, era n’omuzimu gwakyo guba mukambwe, era ne ku muntu bwe guli ne ku bitonde ebirala. Ekyo kitegeeza nti singa ekisolo ekikambwe kifa, okweriraanya awali ebisigalira byakyo si kirungi, olw’ensonga oyinza okulumbibwa omuzimu gwakyo omukambwe.

Abasawuzi baagala nnyo okukuumira amaliba g’ebisolo ebikambwe mu masabo gaabwe, nga ag’engo, empologoma, ttimba n’ebisolo ebirala. Ekitufu kiri tebabikuumiramu lwa kwagala kutiisa ‘balwadde’ baabwe kyokka, wabula baba bakuumiramu n’emizimu gy’ebisolo ebyo. Ewamu n’ekyo, abasawuzi bangi abakola ekintu ekyo, naye nga bbo tebamanyi nsonga ebateesa maliba ago mu masabo  gaabwe. Bbo bagassaamu lwa kuba ‘empewo’ zaabwe oba amajiini gaabwe  gaba gabalagidde, naye nga tegababuulidde kyama kikirimu.

Nga bw’olaba nti omusawuzi akuwa ‘akati’ oba ‘akabugo’ naye nga takubuulidde nti mulimu ejjiini, n’amajiini nago galina bye gakozesa abasawuzi naye nga tegababulidde nsonga. Okutegeera obulungi engeri amajiini gye gakozesaamu emizimu gy’ebisolo, tugenda kweyambisa eky’okulabirako kino wammanga.

Kimanyiddwa bulungi nti omuyizzi w’ebisolo yeeyambisa mbwa mu kuyigga.Mu ngeri y’emu era ekituufu kiri nti n’omusawuzi yeeyambisa majiini mu kusawula. Mu ngeri endala, abantu kye batamanyi kwe kuba nti n’amajiini olumu nago geeyambisa mizimu gya bisolo bikambwe mu kulumba abantu oba okulumba emizimu emirumbaganyi. Emizimu gy’abantu olw’okuba giba gitegeera, giba gisobola ‘okulunda’ egy’ebisolo ebitategeera nga n’omuntu bw’abirunda nga biramu.

Ow’okuba amajiini geeyambisa emizimu gy’ebisolo ebikambwe, ate ng’emizimu egyo gibeera  ku bisigalira (nga ku maliba ), amajiini kye gava galagira abasawuzi bateekenga amaliba g’ebisolo ebyo mu masabo gaabwe. Ekyo kitegeeza nti tekiba kirungi muntu kutuula ku maliba g'ebisolo ebikambwe.

Olw’okwewala okulumbibwa emizimu gy’ebisolo ng’ebyo, oba oli awo nga Omubaka wa Allah, Nabbi Muhammad (walla Llaahu alaihi wasallama) kye yava agaana abantu okutuula ku maliba g’ebisolo ebikambwe.

Swahaba  ayitibwa Abul-Maliihi (Allah amusiime) yanyumya Hadiith gye yajja ku kitaawe n’agamba nti:

عَنْ أَبِي الْمَلِيْحِ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: [نَهَى رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ عَنْ جُلُوْدِ السِّبَاعِ]. (رَوَاهُ أبُوْ دَاوُدَ).

Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yaziyiza amaliba g’ebisolo ebikambwe”. Soma ( Sunan Abu Dauda) .

Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) okuziyiza amaliba g’ebisolo ebikambwe, yali aziyiza kugatuulako, kubanga mu njogera ya Hadiithi eno endala eri mu kitabo kya  Imaam Tir’midhi, Swahaba y’omu yagamba bw’ati:

عَنْ أَبِي الْمَلِيْحِ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَال: [نَهَى رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ عَنْ جُلُوْدِ السِّبَاعِ أنْ تُفْتَرَشَ]. (رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ).

 “Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yaziyiza okweyalirira amaliba g’ensolo enkambwe”.  Soma (Sunan Tir’midhi).

Wabula ne bwe kitaba kugatuulako, ekituufu kiri nti n’okugatimba, okugambala oba okugakolerako ebintu ebirala ebisembeza emizimu we tuli tekiba kituufu, singa tuba tutunuulidde mulamwa gwa Hadiith.

OKUKWATA OMUZIMU GW'OMUNTU

Nga mpandiika ku muzimu, kyetaagisa okunnyonnyola abasomi ku nsonga y'okukwata omuzimu. Abaffe kisoboka oba tekisoboka? Ye bwe kiba nga kisoboka, kikolwa kitya? Ye abaffe kikosa omuntu oba tekimukosa? Bwe kiba nga kimukosa, kyewalibwa kitya? Ensonga ezo ze ngenda okunnyonyola wammanga.

Okusookera ddala njagala okujjukiza abasomi nti omuzimu kika kya majiini. Engeri gye kiri nti amajiini ziba mpewo, kiba kitegeeza nti n'omuzimu nazo ziba mpewo. Olw'okuba teri muntu asobola kukwata mpewo, kitegeeza nti era teri muntu nga yye asobola kukwata muzimu.

Ewamu n'ekyo, go amajiini ku majiini gasobola bulungi okukwatagana. Engeri gye kiri nti emizimu kika kya majiini, era kiba kitegeeza nti n'amajiini gasobala okukwata omuzimu n'omuzimu gusobola okugakwata. Nga tumaze okulaba nti gasobola okukwatagana, ekibuuzo ekiddako kiri nti, ekyo kisoboka kitya?

Ekituufu kiri nti ekyo kisoboka mu mbeera bbiri:

1.     Nga omuntu yeebase

2.     Oba nga amaze kufa.

Okwebaka n'okufa kumpi bifaanagana, kubanga Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) otulo yatuuka n'okukuyita 'muganda' w'okufa. Singa omuntu yeebaka oba n'afa, omuzimu gwe gusigala gwetengeredde okuva ku muntu oyo. Ekyo kye kivaako n'okuba nga omuntu okuloota amala kwebaka. Endooto omuntu z'aloota ziyita ku muzimu gwe nga bwe tunaalaba mu maaso, okujjako endooto evudde ewa Allah oba ey'okulogojjana. Endooto evudde ewa Allah eyita ku mwoyo gwa muntu, ate ey'okulogojjana ekoma ku mimwa gy'oyo aba alogojjana.

Omusawuzi asobola okutuma amajiini g'aba akozesa ne gakwata omuzimu gw'oyo aba yeebase oba aba yafa edda, wabula tegasobola kukwata gw'oyo ateebase oba atannafa. Gagukwata ne gagutwala ew'omusawo ne gagwogeza bye gaba gaagala.

Mu kwogera kwagwo, ebiseera ebisinga guba gwogerera mu bbanga wabula waliwo ne lwegwogerera ku muntu.  Gali amalumbaganyi gagukaka ne gulinnya ku mukongozzi wa mukama waago. Omukongozzi ye muntu ayogererwako amajiini, emizimu oba ze bayita empewo z'ekika olw'okutuusa obubaka eri abo be kiba kikwatako. Wabula enkola eno evumirirwa nnyo mu Busiraamu olwa shiriki agibaamu.

Omuzimu guba gumanyi buli kyama ky'oyo kwe gwatondebwa. Wabula singa Allah agera ne guba nga mu maanyi gusinga amajiini agaba gagulumbye oba Allah n'aba ng'aguwadde obukuumi obw'enjawulo, amajiini ago amalumbaganyi gaba tegasobola kuguwamba.

Amajiini bwe gawamba omuzimu ogwo, omuntu kwe guba tasobola kuzuukuka nga tegunnateebwa.

Abaganda kye baagamba nti omuzimu gw'omulamu tegusamirirwa, baali bategeeza nti ogw'omufu gwe gusamirirwa! Ne wankubadde mu Busiraamu ekyo kikolwa kya shiriki, naye tufunamu eky'okuyiga nti omuzimu gw'omuntu omulamu (atali mufu oba ateebase) tekisoboka kwogerezaganya nagwo, era ekyo kye kyavaako n'okuba nga tegusobola kukwatibwa.

Olw'ensonga eyo mpunzika nga ngamba nti, kituufu omuzimu gusobola okukwatibwa mu mbeera ezo ezimenyeddwa.

Wabula singa omuzimu gw'omuntu gukwatibwa ne guttibwa, omuntu kwe guba gwatondebwa naye aba afiirawo mu kiseera ekyo. Omuzimu gw'omuntu omulamu tegusobola kufa omuntu kwe guba n'asigala nga mulamu.

Buli kabi akagutuusibwako kaba kakosa omuntu oyo. Era ne bwe guba nga teguttiddwa nga gubonyabonyezeddwa bubonyabonyezebwa, era nyinigwo akosebwa nnyo, era ekyo akiwulirira mu mubiri gwe nga teguliimu maanyi n'akatono. Ekyo abamanyi kye baagamba  hti akamu ku bubonero obulaga nti olumbibwa amajiini, kwe kuggwebwamu amaanyi awatali nsonga etegeerekeka.

Omuntu okuwona ebizibu by'okuwambibwa kw'omuzimu gwe, ateekwa okuba nga yeekuumira nnyo mu mbeera y'okutya Allah, wabula bw'amala okufa, gwo omuzimu gwe guba gulina okwekuumira mu mbeera eyo. Obukuumi Allah bw'awa omuntu ng'akyali mulamu, omuzimu gwe gubugabanako kyenkanyi nga akyali mulamu, kubanga obulumbaganyi bw'amajiini ku muntu ebiseera ebisinga buyitira ku muzimu gwe.

OMUZIMU OKULULUMA

Abaganda balina kye bayita 'okululuma'. Okululuma kitegeeza omuzimu gw'omufu 'okudda' eri abalamu ebiseera ebisinga ne gubatawaanya. Tujja kukiraba mu kitabo kino nti buli kitonde ekirina omwoyo kiba n'omuzimu. Okugeza omuntu, ekisolo, ekinyonyi n'ekiwuka byonna birina emizimu.

Olw'okuba ebitonde ebyo byonna biba n'omuzimu, edda Abaganda bwe baabanga basala endiga baagikubanga 'kabazzi' ku mutwe nga kati abamu bwe bakyakola ku mbizzi. Baawanuuzanga nti bw'otokola bw'otyo omuzimu gwayo guba gujja kululuma. Wabula yali omu ku Bakabaka ba Buganda eyadibya enkola eno olw'obutaagala kulumya bisolo. Soma ekitabo 'Empisa za Buganda' ku nsonga y'emizimu, ekyawanadiikibwa Sir. Apollo Kaggwa.

Era Abaganda balina olugero olugamba nti 'akafa omukkuto tekaluluma'! Mukyo baali bategeeza nti singa omuntu afa olw'omukkuto nti omuzimu gwe tegudda mu bantu!

Ekituufu emizimu egidda mu bantu gikomawo lwa nsonga ndala, wabula si lwa kuba bannyini gyo tebakkutanga mmere! Omuzimu gw'omuntu eyali tatambulira ku ndagu tegusobola kudda mu bantu, era enneeyisa eyo guba gwagikoppa ku 'mukama' waagwo oyo aba yafa. Buli lw'olabanga omuzimu gw'omufu nga 'gukomyewo' ate nga yali amanyiddwa nga atambulira ku ndagu, ekyo kivvuunulwa mu ngeri bbiri:

1.     Olumu guba muzimu gwa muntu mulala oba liba jjiini nga byagala okubaseereza.

2.     Oba nga omufu oyo mwali temumanyi bumanya nti atambulira ku ndagu naye nga yali azitambulirako.

Ekirala Abaganda bawanuuza nti nga oyagala omuzimu gw'omusajja omufu guleme kudda kutawaanya nnamwandu, nti oddira olugoye olw'omukisenge (enkumbi) n'oluziika ku ntaana ya bba nga mumaze okuziika, n'olaamiriza nga  ogugamba nti 'naawe tukuziise toddanga kutawaanya nnamwandu'!

Enkola eyo nkyamu mu Busiraamu, kubanga ekirina okukolebwa singa omuzimu gutawaanya nnamwandu, kuba yye kwekuumira mu kutya Allah oba bwe kiba kyetaagisizza n'asomerwa Ruq'ya.

Mu kuziika omugenzi Nelson Mandela, abataka okuva mu kika kye beemulugunyiza Gavumuenti ya South Africa okubalemesa okuziika omuntu waabwe mu biseera enjuba w'ebeerera mu makkati g'eggulu (mid-day)! Baagamba nti baali baagala kumuziika mu budde obwo kisobozese omuzimu gwe obutaluluma! Bino byalabikira mu Lupapula lw'amawulire olwa Bukedde lwe nneerabidde ennaku z'omwezi.

Kino kyayongera okunkakasa lwaki ddala Omubaka (swalla-Llaahu alaihi wasallama) yatuziyiza okuziika abafu mu kiseera nga enjuba eri mu makkati g'eggulu. Yakitugaana kubanga yayagala twawukane ku Bashiriku bbo abaziikira mu kiseera ekyo nga bwe balaamiriza eri emizimu gy'abafu.

Ekituufu ekyo tekiremesa muzimu gwe kululuma wabula ekigulemesa ky'ekyo kye nnyinyonyodde waggulu. Nakiraze emabega nti omuntu ne bw'ataba Musiraamu, omuzimu gwe guyinza 'obutadda' singa aba yali tatambulira ku ndagu. Era nakiraze nti mu bantu abo mubaamu abatatambulira ku ndagu nga bbo shiriki  waabwe alabikira mu birala, nga okusinza ebintu ebirala ebitali Allah, omuli Issa (alaihi-ssalaaamu), Mariyamu (maama we) n'abo be bayita abatuukirivu.

Nga nva ku nsonga eno, nkubira Abasiraamu omulanga nti nga baagala emizimu gyabwe gireme kudda mu bantu (okululuma), beewale okutambulira ku ndagu emizimu gyabwe gisobole okubakoppako enneeyisa eyo ennungi nga bamaze okufa.

Okulowooza nti bwe banaalya ne bakkuta nti ekyo kye kiritangira emizimu gyabwe obutadda, eyo ntegeera etatuukana na kutegeera kutuufu! Mu ngeri y'emu okuddira 'enkumbi' ne ziziikibwa mu ntaana za babba bannamwandu, ekyo nakyo tekijja kulobera mizimu egyo kudda. Kw'ebyo yongerako okuziika abafu ku ssaawa omukaaga n'ebirala Abashiriku bye bakola ku bafu baabwe. Ekijja okulobera emizimu egyo obutadda ky'ekyo kyokka kye nnyinyonnyodde waggulu.

 ENSIBUKO Y’OBUTASINZA ALLAH KWALI KUSINZA MIZIMU

 Ekituufu kiri nti omulembe gw’abantu abaasookera ddala okuva ku kusinza Katonda omu (Allah), baasookera ku kusinza mizimu gya bafu, era ensonga eyo Quraani egikakasa bulungi.

Wabula nga sinnaba kunnyonnyola nsonga eno, ka tusooke tunnyonnyoke bino wammanga.

Wakati wa jajjaffe Adam ne Nnabbi Nuuhu awo waaliwo ebyasa kkumi nga gy’emyaka lukumi (1000), era ensonga eyo Swahaba Ibn Abbaas (Allah amusiime) ye yaginnyonnyola nga bwe kiri mu (Swahiih Bukhaar).

Wabula wakati wa Adam ne Nnabbi Nuuhu, ekituufu waaliwo ebikolobero ebyali bikolebwa, nga mwe mwali mutabani wa Adam, Haabiilu bali gwe bayita Abel okutta mugandawe, Qaabiilu bali gwe bayita Cain. Ewamu n’ekyo, ekyo Allah teyakisinziirako kutuma Babaka.

Wabula abantu bwe baatandika okusinza ebitonde (emizimu), Allah kwe kusalawo atume Nnabbi we eyasooka  mu nsi. Nabbi eyaasoka okutumwa mu nsi yali Nuuhu bali gwe bayita Noah (soma Nowa). Mu Hadiithi entuufu Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yagamba  nti:

"أَوَّلُ نَبِيٍّ أُرْسِلَ نُوْحٌ".(رواه البخاري).

 “Nabbi eyasooka okutumwa yali Nuuhu”. Soma  (Swahiih Al-Bukhaar).

Allah yagamba mu Quraani nti:

[وَقَالُوْا لاَ تَذَرُنَّ وَدًّا وَلاَ سُوَاعًا وَلاَ يَغُوْثَ وَلاَ يَعُوْقَ وَنَسْرًا ]. (سُوْرَةُ نُوْحٍ : آيَة۲٥).

 “Era (Abawalabu) baagamba nti: Temuleka (balubaale bammwe, nga) wadda, yadde suwa, yadde yaguutha, yadde Ya’uuqa yadde Nas’ra”.Soma ( Suraat Nuuh: Aya 25).

Amannya ago agali mu Aya eyo, gaali mannya ga bantu abaali abalongoofu abaafa ku mulembe gwa Nnabbi Nuuhu. Oluvannyuma abantu baatandiikiriza mpolampola okubasinza okutuusa Abawalabu amannya ago lwe baagabbula mu balubaale baabwe be baali basamira. Ekyo kiba kiraga nti entandikwa y'abantu okutandika okusinza ebintu ebirala ebitali Allah, baatandikira ku mizimu gya bafu.

Swahaba Ibn Abbaas (Allah amusiime) bwe yali avvuunula Aya eyo waggulu, yagamba bwati:

[هَذِهِ أسْمَاءُ رِجَالٍ صَالِحِيْنَ مِنْ قَوْمِ نُوْحٍ، فَلَمَّا هَلَكُوْا أوْحَى الشَّيْطَانُ إلَى قَوْمِهِمْ أنِ انْصِبُوْا إلَى مَجَالِسِهِمْ الَّتِيْ كَانُوْا يَجْلِسُوْنَ فِيْهَا أنْصَابًا، وَسَمُّوْهُمْ بِأسْمَائِهِمْ فَفَعَلُوْا، وَلَمْ تُعْبَدْ حَتَّى إذَا هَلَكَ أوْلَئِكَ وَنُسِيَ العِلْمُ عُبِد َتْ". (رَوَاه البُخَارِيُّ).

“Ago mannya ga bantu abaali abalongoofu ku mulembe gwa (Nabbi) Nuuhu. Bwe baamala okufa, sitaani yaweereza obubaka bwayo eri abantu baabwe n’ebagamba nti: Musimbe amasenemu mu bifo byabwe bye baatulangamu (mu masinzizo), era mugabbule mu mannya gaabwe era ne bakikola. Wabula tegaasinzibwa okutuusa nga omulembe gw’abo (abaakikola) gumaze kusaanawo. Okumanya bwe kwerabirwa olwo abaddako ne bagasinza”.  Soma (Swahiih al-Bukhaar).

Ibn Abbaas (Allah amusiime) kye yagamba nti, 'okumanya bwe kwerabirwa' yali ategeeza nti abantu abajja oluvannyuma lw’abo abaakola ekintu ekyo mu mutima ogutaali mubi, bbo tebaamanya kigendererwa kya bali abaasooka.

Olw’ensonga eyo nange ngamba nti ekyagwa ku bantu abo, era kye kyatuuka kumpi mu buli kitundu kya nsi omuli abantu abasinza ensinza ‘y’obujjajja’- omuli n’e Buganda.

Eyali Katikkiro wa Buganda, Sir. Apollo Kaggwa (1824-1926 AD), mu kitabo kye ‘Empisa za Buganda’  kye yawandiika mu ntandikwa y’ekyasa ekiwedde (1900), yalaga nti okusinza mu Buganda kwali kwa kusamira.  Yanokolayo balubaale mu Buganda abasamirwa, omwali Mukasa, Kibuuka n’abalala! Yawunzika n’agamba nti ‘balubaale ba Buganda abo, baali bantu’!

Ekyo kikakasa ekigamba nti abantu okuwuguka ne bava ku kusinza Omutonzi (Allah), baawugukira ku kusinza bafu (mizimu). Ekibuuzo kigamba nti, lwaki abantu basinza bitonde binnaabwe ne baleka eyabitonda (Allah)?

Abawalabu Abakaafiiri okwanukula ekibuuzo ekyo bbo baagamba nti, bbo ssi bye basinza, nti wabula byo bibatuusiza butuusiza bwetaavu bwabwe eri Katonda (Allah)! Soma (Suurat 10: Aya 18). Baayogerera ddala ng’Abaganda Abashiriku kati bwe bagamba nti bbo newankubadde basamira, nti mu kusamira bakakasa nti Katonda gy’ali mbu naye okusamira, baba baagala emizimu gibatuusize byetaago byabwe eri Katonda.

Ekibuuzo ekiddako kiri nti, dala emizimu ne Katonda ani ali okumpi n’omuntu? Ekituufu kiri  Katonda (Allah) y’ali okumpi n’omuntu okusinga emizimu n’okusinga buli kintu kyonna. Soma (Suurat Al-Baqara: Aya 186), (Suurat al-Waaqi’a: Aya 85), ne (Suurat 17: Aya 57). Olw’okuba Allah ali kumpi n’omuntu, kitegeeza tewaba bwetaavu kuyisa bwetaavu bwo mu kitonde kyonna, k’abe Nabbi, malayika oba amajiini. Era bw’okikola oba okoze ekintu ekikontana n'okwawula Allah (Taw'hiidu).

Ekituufu kiri nti emizimu tegyogera na Allah, era ffe Abasiraamu ne bwe tuba tusaba Allah, tetulina kuyita mu kitonde kyonna, nga bwe  tunaakiraba mu maaso eyo in-sha-Allah.

Abantu abasinza ebintu ebirala ebitali Allah, ng’emiti eminene, okugeza (Nakayima), oba ennyanja, okugeza Nalubaale  ne  Wamala n’ebirala, ebintu  ebyo babituuma mannya ga mizimu  gya bafu! Bakolera ddala abantu abaasooka kye baakola Allah n’akisinziirako okutuma Bannabbi. Bw’otunuululira lubaale  Mukasa,  ekituufu kiri nti  Mukasa  yali muntu, ng’abeera  Bukasa,  era kitaawe yali ayitibwa   Wannema!

Bw’odda ku Kibuuka (Omumbaale), ono naye yali muntu, era yali mutabani wa Mukasa nga mu kusooka yali ayitibwa Kyobe nga bajjajjaffe tebannawanuuza nti yalwanira mu bire ng’alwanagana n’Abanyolo e Mbaale  mu  Mawokota!

Ennyanja Wamala eri mu Ssingo, nayo lubaale mu Buganda era nayo bagisamira, so nga Wamala yali muntu. Omuti  ‘Nakayima’  abantu gwe basamira, naye yali muntu era yali muka Nduhuura eyali omu ku bakabaka ba Bachwezi! Bino byonna byongera okukkaatiriza, nti abantu okuwuguka ne bava ku kusinza Allah, baawugukira mu kya kusinza mizimu gya bafu.

Kya nnaku nti jjajjange yabbula kitange mu  'Mukasa'! Era kya nnaku nti nange nabbulwa mu  'Kibuuka'!  Bakadde baffe okutuuma amannya ago, tekitegeeza nti baali basamize, wabula baali tebaafuna kunnyonnyolwa kulungamu ku nsonga eno. Nsaba Allah atusonyiwe nabo abasonyiwe.

Kya mu Busiraamu okwejjako amannya ng’ago era nze njakusigala nga ‘Kibuuka’ ndiwandiikira mu  ‘inverted commas’ okulaga obutali bumativu, nga  bw’olaba ku ddiba ly’ekitabo kino n’ebitabo byange ebirala.

Eky'okulabirako, Swahaba ayitibwa  Abu Huraira (Allah amusiime) yali tannasiramuka ng’ayitibwa   Abdu-Sham’s  ekitegeeza 'omusinza w’enjuba'. Bwe yamala okusiramuka, Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) yamujjako erinnya eryo n’amutuuma Abdu-Rrah’man ekitegeeza 'omusinza wa Allah'. 

Ekyo kitegeeza nti tuteekeddwa okukyusa amannya amabi, ne bwe tuba nga ebibi ebigagenderako  tetubikolerako. Okumanya okukyusa amannya amabi kikulu nnyo mu Busiraamu, Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) yakyusanga n’amannya g’ebitundu amabi n’abituuma amannya amalala nga bwe nnakiraga mu kitabo kyange 'Weeyigirize Hadiith 50 Entuufu, part 4’.

Omulamwa omukulu ku nsonga eno, kubadde kulaga nti mu byafaayo by’obuntu, abantu abaasooka okuwuguka ne bava ku kusinza Katonda omu (Allah), baasooka kusinza mizimu gya bafu wano e Buganda ze bayita empewo z’ekika. N’olwekyo enkola eyo tuteekeddwa okugyesamba ne bwe tuba mu bizibu eby’amaanyi, omuli obwavu, endwadde n'ebirala.

 ABASIRAAMU ABAMU BASINZA EMIZIMU N'AMAJIINI

Ku mulembe ggwaffe guno, waliwo abantu abeerimbika mu Busiraamu sso nga Obusiraamu buli wala nnyo nabo, nga nabo basinza mizimu  na majiini mu kumanya oba mu butamanya!

Bakungaanira mu maka g’omu kubo, naddala ku Lw’okuna, ne batandika okukola bbo kye bayita okutendereza Allah mu lwatu. Bateekamu okuyimba n’okuzina – bbo kye bayita ‘okuzikira’

nga bwe bagamba nti ‘A’aallah’ ‘A’aallah’, oba  ‘Huuwah’ ‘Huuwah’ okutuusa amajiini lwe gabalinnya ku mitwe.

Bwe gabalinnya ku mitwe, bbo bakiyita ‘jaz’bah’, oba mu Luganda-Luwalabu ‘okujazibika’. Balina endowooza egamba nti, ekyo gwe kiba kituuseeko, nti liba ddaala lya waggulu nnyo mu kusinza Allah. Eddaala  eryo bbo baliyita ‘yaqiini’. Bagamba nti  ‘yaqiini’ eyo, nti y’eyo Allah gye yagamba Nabbi (swallah Llaahu alaihi wasallama) bwe yamugamba nti amusinze okutuusa yaqiini lw’enaamujjira - nga bwe kiri mu (Suurat al-Hij’ﷺ‬: Aya 99).

Ekituufu yaqiini eyogerwako mu Aya eyo, kyali kitegeeza ‘kufa’! Ekyo kiba kitegeeza nti Allah yali agamba Nabbi we Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) amusinze okutuusa lw’alifa. Abantu abo mu mazima baba basinza mizimu na majiini, era ne wano e Uganda weebali, era kakundi kamu mu bukundi obungi obw'Abasuufi nga babayita ‘mystic’  mu Lungereza ate mu Luwalabu bayitibwa [الصُّوْفِيَّةُ].

Ennaku zino wano e Uganda beeyubululidde mu linnya ddala; kati beeyita Bamuhibbiina naye nga be bamu Abasuufi bennyini! Enkola yaabwe eyo ne wankubadde ya buganzi nnyo mu Basuufi, naye mubo mulimu abatagiwagira era nga bagivumirira nga obukyamu bwabwe bulabikira mu bintu birala.

Abo abawagira enkola eno balina n’ekigamba nti Nabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama) yagamba nti:  “Tendereeza nnyo Allah batuuke n’okukuyita omulalu”! Eyo si Hadiith ya Nnabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama), wabula bigambo bijweteke nga abakugu mu Hadiith bwe baatulabula.

Enkola y’abantu abo terina njawulo na ya Bawalabu gye baakolanga nga Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) tannatumwa. Baayimbanga nga bwe bazina, wamu n’okukuba mu ngalo nga bataddeko n’okufuuwa empa.

Okusamira kwabwe okwo bbo baalowoozanga nti kusinza Katonda. Abantu abo Allah yabavumirira mu Quraani n’agamba nti:

] وَمَا كَانَ صَلاَتُهُمْ عِنْدَ البَيْتِ إِلاَّ مُكَاءً وَتَصْدِيَةً ...[ (سُوْرَةُ الْأَنْفَالِ: آية ۳٥) .

 “Okusaba kwabwe kwe baakoleranga ku nju (Kaaba), kwabanga kukuba mu ngalo na kufuuwa mpa……”. Soma (Suurat al-An’faal: Aya 35).

Mu ngeri endala tebaba na njawulo na basamize abakungaanira awantu, ne batandika okuyimba ennyimba ezikoowoola lubaale. Abasinza lubaale ekituufu baba basinza mizimu na majiini, nga na bano abawoza ‘Aallah Huuwah’ bwe bakola mu butamanya. Ekibalinnya ku mitwe era kye kirinnya n’abasamize – nga gaba majiiini. Ekigambo kino ne wankubadde kikaawa nga omususa, naye ago ge mazima agakaawa. Teri asinga Mubaka Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) kusinza Allah (omuli n’okuleeta zikiri), naye teyaggwangamu magezi nga abo! Ndayira Allah eyatutonda nti bwe tulifa, mujja kukisanga nga bwe mbannyonnyodde.

Mu ngeri endala tebaba na njawulo na ‘Balokole’ abamu abakuba ebivuga ne bayimba nga bwe bazina, okukkakkana ng’amajiini n’emizimu bibalinnye ku mitwe. Bangi mubo baabuwe baba balowooza nti ‘mwoyo mutukuvu’ y’aba abasseeko. Majiini gennyini n'emizimu bye biba bibalinnye so ssi mwoyo mutukuvu.

Nga nva ku nsonga eno, nkubira Abasiraamu omulanga baviire ddala ku kukola ebikolwa eby’okubookesa omuliro, basinze Allah waabwe omu yekka oyo eyabatonda era n’atonda buli kimu.

Mu kitabo kyange 'Ebifa ku majiini', bwe nnali mpandiika ekyantuma okukiwandiika, nagamba nti ekimu ku bigendererwa kwali kulaga bantu, okusingira ddala Abasiraamu, obunafu bw’ebitonde bino, balekere awo okubisinza.

Ebyo byonna bikakasa nti ensibuko y’abantu okusinza ebitonde, baasokera ku kusinza mizimu gya bafu. Olw’ensonga eyo, nsuubira nti abantu abasinza emizimu n’amajiini mw’abo bemmenye waggulu, nsuubira bajja kwekuba mu kifuba, bave ku kusinza bitonde binnaffe, basinze Omutonzi waabyo, Allah (sub’haanahu wata-aala).

OMUZIMU NAGWO GUFA

Omuzimu nagwo gafa ng’omuntu bw’afa kubanga nakyo kitonde nga ebitonde ebirara. Ewamu n'ekyo, kwo okufa kwagwo kubaawo mu mbeera bbiri.

1.     Waliwo lwe gufiira okumu n’omuntu; nga bwe gufa n’omuntu afiirawo.

2.     Ate waliwo lwe gufa nga omuntu gwe gwaliko yafa dda. (Tegusobola kufa ate nga omuntu kwe guli akyali mulamu).

Wabula ewamu n’okuba nga omuzimu gufa, naye ensonga ezimu kwe gusinziira okufa zaawukana ku z’abantu. Okugeza  newankubadde gusobola okufiira mu ntalo zaagwo nga gulwanagana ne ginne waagyo, naye ate tegufa bulwadde obumu obuluma abantu, naddala obulwadde obuleetebwa obuwuka. Ekirala guwangaala nnyo okusinga ku bantu, kuba gusobola n’okusukka emyaka ebitaano!

Obujulizi obukakasa nti emizimu nagyo gifa, era bwe bujulizi obulaga nti amajiini gafa. Emizimu kika kya majiini, era y'ensonga lwaki twalabye nga Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) omuzimu yaguyita 'munne w'omuntu mu majiini'. Yagamba mu Hadiith eva ku Ibn Mas'uud (Allah amusiime) nti:

(عَنْ ابْنِ مَسْعُوْدٍ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: قَالَ رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: مَا مِنْكُمْ مِنْ أحَدٍ إلاَّ وُكِّلَ بِهِ قَرِيْنُهُ مِنَ الجِنِّ......). (رَوَاهُ مُسْلِمُ).

 “Teri muntu yenna mu mmwe okujjako nga yassibwako munne mu majiini…….". Soma ekitabo  (Swahiih Muslim: 17/157) ekiriko okunnyonnyola kwa Imaam Nawawi 631-676 HJ.

Omubaka gwe yayita munne w'omuntu mu majiini, yali ategeeza muzimu gwa muntu nga bwe twakirabye emabega. Okuguyita munne w'omuntu mu majiini, yali akikkaatiriza nti omuzimu kika kya majiini. Wabula waliwo enjawulo entonotono eziri wakati w'omuzimu n'ejjiini nga bwe tunaakiraba mu maaaso in-sha-Allah.

Obujulizi obulaga nti omuzimu gufa, Allah yagamba mu Qur’an nti:

] كُلُّ نَفْسٍ ذَائِقَةُ الْمَوْتِ ...[  انظُرْ (سُوْرَة آل عِمْرَان : ۱۸٥).

 “Buli mwoyo gwa kukomba ku kufa……..”. Soma (Suurat Aal  Im’raan: Aya 185).

Omukugu mu kuvvuunula Quraan, Imam Ibn Kathiir 701-774HJ bwe yali avvuunula Aya eyo yagamba bw’ati:

[يُخْبِرُ الله تَعَالَى إِخْبَارًا عَامًا يَعُمُّ جَمِيْعَ الْخَلِيْقَةِ بِأَنَّ كُلَّ نَفْسٍ ذَائِقَةُ الْمَوْتِ ... فَهُوَ تَعَالَى وَحْدَهُ الْحَيُّ الَّذِيْ لاَ يَمُوْتُ وَالْجِنُّ وَالإِنْسُ يَمُوْتُوْنَ، وَكَذَلِكَ الْمَلائِكَةُ وَحَمَلَةُ الْعَرْشِ...]

“Allah yategeeza mu njogera ey’olukale eyazingiramu buli kitonde nti buli mwoyo gwa kukomba ku kufa………Allah eyayitirira okuba owa waggulu ye yekka oyo  atafa, so nga amajiini n'abantu bafa nabwekityo malayika omuli n'ezo ezeetisse nnamulondo…”.

Mu Aya eyo mulimu obujulizi nti omuzimu gufa, kubanga tukirabye kaati mu Hadiith eyo waggulu nti omuzimu kika kya majiini. Kitegeeza amajiini bwe gaba nga gafa, ate  tewaba kigaana mizimu kufa.

Obujulizi obulala obulaga nti emizimu gifa, Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama)  bwe yalinga asaba Allah yasabanga bw’ati: 

[اللَّهُمَّ لَكَ أَسْلَمْتُ، وَبِكَ آمَنْتُ، وَعَلَيْكَ تَوَكَّلْتُ، وَإِلَيْكَ أَنَبْتُ، وَبِكَ خَاصَمْتُ. اللَّهُمَّ إِنِّيْ أَعُوْذُ بِعِزَّتِكَ لاَ إِلهَ إِلاَّ  أَنْتَ أَنْ تَضِلَّنِيْ، أَنْتَ الْحَيُّ الَّذِيْ لاَ يَمُوْتُ، وَالْجنُّ وَالإِنْسُ يَمُوْتُوْنَ] (رواه البُخَارِيُّ :

“Ayi Allah neewaddeyo gy’oli, era Ggwe gwe nnakkiriza, era ku Ggwe kwe nneesigamidde, era gy’oli gye nnadda, era Ggwe gwenkaayanyisa (gwe njuliza mu nkaayana). Ayi Allah nkusaba olw’ekitiibwa kyo, era nga nkakasa nti tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Ggwe, nkusaba oleme kumbuza, Gwe mulamu oyo atafa so ng’amajiini n’abantu bafa”. (Swahiih Bukhaar, 7|167).

Hadiithi eyo eraga nti emizimu gifa, kubanga tukirabye nga Nabbi Muhammad (swalla-Llaahu alaihi wasallama) omuzimu yaguyita munne w'omuntu mu majiini. Kitegeeza teyaalisabye Allah bw’atyo singa amajiini gaali tegafa, kubanga teyayogeranga nga yeetumiikirizza, wabula buli kye yayogeranga nga kikwata ku kusinza Allah bwabanga bubaka obwamubikkulirwanga okuva ewa Allah. Soma (Suurat al-Naj’m: Aya 4).

Olw’okuba emizimu bitonde ebifa, kiba kitegeeza nti tekiba kituufu kubisinza era nga bwe kitali kituufu kusinza kitonde kyonna ekifa - omuli ne Nnabbi Isa mutabani wa Maliyamu.

Ekigamba nti omuzimu tegufa ekyo si kituufu, kubanga nagwo kitonde butonde mu bitonde bya Allah, kakibe nga kituufu nti guwangaala nnyo.

Era obujulizi obw'obuntu obulaga nti emizimu gifa, kwe kuba nti bwe girinnya abantu ku mitwe ne tubasomera Ruq'ya, gimanyi okuwanjaga nga gigamba nti 'temututta'! Dala gyaliwanjaze bwe gityo singa gyali tegifa?

 OMUZIMU SSI GWE MWOYO

Mu nzikiriza ezimu wamu n’obuwangwa, kitwalibwa nti omwoyo gwe muzimu, naye ekituufu kiri nti ebyo bitonde bya njawulo. Omwoyo gw’omuntu tegufa ate omuzimu gufa, olw’ensonga eyo ebitonde ebyo tebiyinza kuba bye bimu. Okusinzira ku Quraani ne Hadiithi, bw’olondoola omwoyo gw’omuntu ng’amaze okufa, okizuula nga ggwo tegufa. Ate omuzimu engeri gye guli jjiini gwo gufa, kuba amajiini gafa nga bwe tukirabye mu mulyango oguwedde ne mu kitabo kyange 'Ebifa ku majiini'.

Singa omuntu afa ng’abadde mulongoofu, omwoyo gwe guba mu Jjana, ate bw’aba mwonoonefu gubeera mu muliro. Olw’okuba ekitabo kino kizimbire ku Quraani ne Hadiithi, ngenda kulaga obujulizi ku nsonga eyo.

Omwoyo gw’omuntu omwonoonefu bwe guba mu muliro, tegusobola kutolokamu, ate ogw’omulongoofu bwe guba mu Jjana nagwo tegusobola kugivaamu. Ku ky’okuba nga ogw’omwonoonefu tegusobola kutoloka mu muliro, Allah yagamba mu Quraani, nti:

"كُلَّمَا أرَادُوْا أنْ يَخْرُجُوْا مِنْهَا أُعِيْدُوْا فِيْهَا........"(سُوْرَةِ السَّجْدةِ: آيَة ۲۰).

“…..buli lwe balyagalanga okuguvaamu, nga bazzibwamu…..”. Soma (Suurat al-Saj’da : Aya 20), ne (Suurat al-Zukh’ruf: Aya 77).

Aya eyo eraga nti abantu abaliba mu muliro baligezaako okugutolokamu, naye okugezaako kwabwe kuligwa butaka. Ekyo kiri bwe kityo lwa kubanga Malayika ezikuuma ‘ekkomera’ ly’omuliro nsukkulumu mu maanyi, nga Allah bwe yagamba mu  (Suurat  al-Tah’riim:Aya 6).

Olw’ensonga eyo, omwoyo tegusobola kuvaamu nti gudde ku nsi. Ffe kye tuyita omwoyo guba muzimu gwa mufu. Omuzimu ogwo guba gwasigala mu nsi nyini gwo bwe yamala okufa.

Mu kifo ekirala mu Quraani, Allah bwe yali annyonnyola engeri omuntu omwonoonefu gy’alaajanamu nga okufa kumutuuseeko, atuuke n’okusaba Allah amuzze ku nsi, Allah mu kugaana okusaba kwe amuddamu bwati:

"...كَلاَّ إنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَائِلُهَا، وَمِنْ وَرَائِهِمْ بَرْزَخٌ إلَى يَوْمِ يُبْعَثُوْنَ". (سُوْرَةُ المُؤْمِنُوْنَ: آيَة ۱۰۰).)

 “……nedda nedda! Ekyo ekigambo wa kukyogera bw’ogezi, kubanga amabega waabwe eriyo ejjiji okutuusa lwe balizuukizibwa”. Soma (Suurat al-Mu’uminuuna: Aya 100).

Mu Aya eyo, Allah alaga nti omuntu bw’afa, nga amazuukira g’ebitonde ag’ekirindi tegannatuuka, teba muntu yenna asobola kudda ku nsi, kubanga wakati w’okufa n’okuzuukira waliwo ejjiji eritawaguzika kudda ku nsi. Bwe kiba nga oyo ayogerwako mu Aya eyo aba tannafiira ddala, olwo butya aba afiiridde ddala bw’oyinza okugamba nti omwoyo gwe guyinza okukomawo?

Ekirala Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yannyonnyola mu Hadith entuufu n'agamba nti nga amazuukira gatuuse, entaana ye y’egenda okusooka okujjibwako ettaka. Ekyo kitegeeza nti y’agenda okusooka okuzuukira. Engeri gye kiri nti omubiri gwe gukyali mu ntaana, kitegeeza nti teba mwoyo gwonna gusobola kumusooka kuvaayo.

Obujulizi obwo bwonna bulaga nti ssi muntu era ssi mwoyo gwe nti gwe guba gukomyewo, wabula guba muzimu gwe abamu gwe  bayita ‘omuzzi-mu-muntu’ ekisalwako nti  ‘omuzimu’

Abo bonna abaafa nga waliwo obujulizi obutuufu nti baazuukira, nga Allah gw’ayogerako  mu (Suurat al-Baqara: Aya 259), abo Allah aba asoose kujjawo jjiji eryo. Era eyo eba mbeera ya njawulo, etejjaawo kigamba nti omwoyo gw’omuntu tegudda ng’enkomerero tennatuuka.

Bwe tudda ku mwoyo gw’Omukkiriza, gwo ekituufu guba mu Jjana, nga Allah bwe yagamba  mu (Suurat al-Faj’ﷺ‬: Aya 27-70). Mu Aya eyo Allah yagamba nti:

)يَاأَيَّتُهَا النَّفْسُ الْمُطْمَئِنَّةُ, إِرْجِعِيْ إِلَى رَبِّكِ رَاضِيَةً مَّرْضِيَّةً....). سورة الفجر: آية ۲٧).

"Owange mwoyo ggwe omutebenkevu! Da eri Katonda wo nga osiimye era nga osiimiddwa….". Soma (Suurat al-Fajr: Aya 27).

  Aya eyo eyogera ku muntu eyaakafa  biki ebiddirira.Tewali mwoyo guliba mu Jjana ate ne gwegomba okudda ku nsi, okujjako ogw’omuntu  eyafiirira eddiini  ya Allah (ey’Obusiraamu).

Ewamu n’ekyo, era gujja kukoma ku kwegomba  bwegombi, naye ssi gwa kudda. Ekirigwegombesa y’empeera  ennyingi ennyo gye guliraba eriba eweereddwa 'Bamujaahiduuna'. Gulyegomba okudda ku nsi gulwane guddemu guweebwe empeera esingako. Ebyo bw’atyo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bwe yabinnyonyola mu Hadiithi entuufu.

Ekirara kikyamu okulowooza nti omuntu bw’afa nti omwoyo gwe guwangibwa mu mubiri gw’omuntu omulala anaazaalibwa. Enzikiriza eyo nkyamu era mu Luwalabu eyitibwa (تَنَاسُخُ الْأَرْوَاحِ) oba mu Lungereza ‘transmigration’. Ekituufu kiri nti emyoyo gyonna egy’abantu Allah yagitonda dda, oluvannyuma Allah n’atonda emibiri ng’agijja mu nsigo y’obuzadde (sperms), nga bwe kiri mu (Suurat al-A’araaf: Aya 172) ne mu (Suurat al-Saj’dah: Aya7).

Omubiri bwe guweza emyezi ena mu lubuto, Allah agukolako ebintu bina, nga ekimu ku byo, alagira Malayika n’egufuuwamu omwoyo. Bw’atyo Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) bwe yabinnyonyola mu Hadiithi entuufu.

Ekirala kikyamu okulowooza nti omuntu bw’afa, nti omwoyo gwe gubeera Tanda, mu Ssingo. Abantu abamu (naddala Abaganda), bawanuuza nti eyo gye gutwalibwa ne gukuumibwa, mbu wabula emyoyo emyewagguzi mbu gyo gitolokayo, mbu era gye gino egitera okutuga abantu.

Obukyamu bw’enzikiriza eyo bulabikira mu kuba nti oli bw’akkiriza bw’atyo, aba tayawula muzimu ku mwoyo, era aba alowooza nti emizimu gibeera Ttanda! Nakiraze emabega nti, omuzimu gw’omufu gwekuumira nnyo ewaba ebisigalira bye, gube gwa muntu, nsolo, kinyonyi oba kiwuka, ate nga bwe gutyo bwe guba!

Oluvannyuma lw’okulaga enjawulo wakati w’omuzimu n’omwoyo, kiba kitegeeza nti, eba nzikiriza nkyamu okugamba nti ebitonde ebyo byombi kye kimu. Omuntu okuba n’enzikiriza eyo, kimuviiramu n’okulowooza nti teri kuzuukira yadde ejjana n’omuliro, anti aba alaba nga olufa ‘omwoyo’ gudda ku byagwo! Mu kitabo kino kyonna ensonga eno mu kulaba kwange ky'ekkinyuzi era omulamwa gwakyo.

ENJAWULO WAKATI W’EJJIINI N’OMUZIMU (QARIINU)

Ekituufu kiri nti ebitonde ebyo byombi bya njawulo, naye ewamu n’ekyo omuzimu (qariinu)  kika kya majiini. Wabula ekyo tekitegeeza nti ebitonde ebyo byombi bifaanana mu buli kimu, era  zino wammanga ze zimu ku njawulo z’ebitonde ebyo:

v  Omuzimu kitonde Allah kye yatonda ng’atonda omuntu; omuntu akula nagwo gukula, so nga omwoyo guba gwatondwa dda ne gumuteekebwamu ku myezi ena mu lubuto lwa nnyina, nga Nabbi (swallaLlaahu alaihi wasallama) bwe yakinnyonyola.

v Ejjiini terisobola kumanya kiba ku mutima gwa muntu ne bwe liba limulinye ku mutwe, so nga omuzimu gw’omuntu gumanya, naye gumanya ky’oyo yekka kwe gwatondwa.

v Emizimu gifumbiriganwa gyokka na gyokka, n’amajjini gokka na gokka, era ekyo kimu ku biraga enjawulo y’ebitonde ebyo.

v Omuzimu kitonde ekinafu mu butonde bw’akyo n’obukugu bw’akyo bw’ogugeraageranya n’ejjiini, era omuzimu tegwepankira ku jjiini, okujjako nga tto!

v Omuzimu ne bwe guwangaala gutya, tegusobola kufuuka musambwa ne gweraga mu kifaananyi ky’omuntu oba ekintu ekirala, so nga ejjiini bwe liwangaala ennyo ekyo likisobola.

Ezo ze zimu ku njawulo wakati w’amajiini  n’emizimu, naye waliwo n’enjawulo endala ze ssisobodde kusika kati, n’endala ze ssimanyi.

Wabula ewamu n’okuba nga omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, naye n’essaawa eno tukyawulira amawulire agalaga nti omuzimu gundi gwalabikidde gundi  mu kifo gundi.

Mu kitabo 'Ebifa ku majiini', nagamba nti bw’olabanga  'omusambwa'  mu kifaananyi ky’oyo eyafa, eryo liba jjiini eriba ly’efaanaanyirizza omufu oyo, wabula teguba muzimu gwe, kuba ggwo Allah teyaguwa busobozi obwo (obw’okwepanga  n’okwepangulula).

Waliwo n’okuba nga olabira ddala ‘omufu’ kennyini naye nga si jjiini lye limwefaanaanyirizza, wabula nga maaso go ge gakyusiddwa, olumu olw’eddogo, nga bwe nnakiraga mu kitabo ekyo bwe nnajuliza (Suuratal-A’araaf : Aya 116)  ne (Suurat Twaha: Aya 66).

Eky’okukyusa amaaso g’omuntu n’alaba ky’alabye naye nga tekiriiwo, n’omuzimu gusobola okukikola ku muntu. Wabula bwe kiba nga maaso ge gakyusiddwa n’olaba ky’olaba, ekyo ky’oba olabye tekisobola kukukosa ku mubiri gwo, kuba mu butuufu tekibaawo; kiba kiguumaaza oba kye bayita ‘hallucination’ mu Lungereza.

Ekirara ekibuzaabuza abantu ne bawakanya ekigamba nti omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, bagamba nti baali bakirabyeeko oba okukiwulira mu nsonda ez’enjawulo, nga emizimu gy’abantu abamu gibeeyolekera, olumu mu kifaananyi ky’ensolo, ng’engo oba ttimba!

Embeera eyo ebeera bw’eti. Waliwo ebika ebimu ebisamira nga bikoowoola emizimu gy’abafu mu bika byabwe, baba bali awo engo oba omusota ne bijja we baba basamirila! Embeera eyo siwakanya nti teeriiyo, wabula ekituufu kiri nti engo eyo eba ezze oba omusota tekiba nti bye biba emizimu gy’abafu.

Engo eyo n’omusota ogwo biba bisolo byennyini, wabula nga biba birinyiddwa emizimu egyo, ne gibireeta we basamirira. Era okumanya biba bisolo byenyini, biba tebisobola na kwogera, sso nga bwe guba musambwa  gwennyini, ne bwe guba mu kifaananyi ky’ensolo gusobola okwogera. N’olwekyo, omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, era ekyo ky’ekyenkomeredde ku nsonga eyo eri oyo anoonya okunnyonnyoka.

 ENDOOTO EZIMU ZIYITA KU MIZIMU

Buli muntu yenna Allah gwe yatonda aloota - ka babe Bannabbi. Enjawulo eriwo eri nti, bbo endooto zaabwe tezifaanana na zaffe mu byonna. Endooto za bika bisatu:

1.Eva ewa Allah (Katonda).

2.Eva ewa sitaani.

3.N’eyo ey’ebintu bye weebase olowooza.

Endooto ezo ez’ebika ebisatu, Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bw'atyo bwe yazitemateema  mu Hadiithi entufu. Omuntu gy’akomya okutya Omutonzi we (Allah), ne Allah gy’akomya okuwa omuzimu gwe obukuumi n’atalootaloota ndooto za sitaani, kubanga endooto ezisinga ziyita ku muzimu gw’oyo aloota.

Ekyo kitegeeza nti omuntu oyo sitaani ziba zikaluubilirwa  okusemberera omuzimu gwe zimuloose endooto ez’obulimba oba ez’entiisa. Era ekyo kwe kuva okuba nga Bannabbi ba Allah tebaalootanga ndooto za sitaani, era bbo kye balootanga nga bamanya nti bubadde bubaka okuva ewa Allah.

Eky’okulabilako, Nabbi Ibraahiim ekiragiro ky’okusala omwana we (Ismail) Allah yakiyisa mu ndooto. Soma (Suurat al-Sswaaffaat: Aya 102). Ne Nabbi Yusufu ekirooto eky’okuba ng'aliba Nnabbi, Allah yakimuyisizza mu ndooto. Soma (Suurat Yusufu: Aya 4-6). Ne Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) eky’okuba nga yali wa kudda mu Makka gye yali agobeddwa Abakaafiiri, Allah yasooka kukimuyisiza mu ndooto. Soma (Suurat al-Fat’h: Aya 27). N’abalala bangi.

Endooto yonna eranga ekintu ekinajja mu maaso ne kigaana okutuukirira eba evudde eri sitaani, kubanga sitaani eba nnimba. Mujjikira bulungi mu kulonda kwa 2006 'omulanzi' eyagamba nti omu mu baali beesimbyewo kwaliko eyali ow’okufa!  Kisoboka okuba nga ddala yaloota, wabula ffe Abasiraamu tukakasa nti endooto eyo yali evudde eri sitaani.

Wabula omuntu ne bw’ataba Nnabbi, naye asobola bulungi okuloota endooto evudde eri Allah era n’etuukirira, era ekyo kyali kituuse  ku bantu bangi, nga  Sheikh Swaleh Kiggundu be yanokolayo mu kitabo kye kye yatuuma ‘Endooto mu Busiraamu’.

Olw’okuba sitaani tezisemberera qariinu za Bannabbi, ekyo kye kyavaako okuba nga Nnabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yatuuka okuva mu nsi nga teyeerooteredde, kubanga okwerooterera okusinga ziba ndooto za majiini amakyamu (sitaani).

Lumu mu kisiibo kya Ramadhan, obudde bwakya nga Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) alina janaba!  Wabula mukyala we Aisha (Allah amusiime) yayanguwa okukinnyonnyola nti yali tagifunye lwa kwerooterera, ekyo ne kyongera okukkaatiriza nti yye teyeerootereranga.

Olw’okuba endooto ezimu ziyita ku muzimu gw’oyo aba aloota, ekyo kitegeeza nti singa omuntu aloota endooto eya sitaani, okugeza ng’alwanagana n’agasolo oba n’abantu, ekituufu kiba nti ssi ggwe oba olwana, wabula guba muzimu gwo, kubanga essaawa eyo gwe guba gulumbiddwa.

Wabula nga bwe watali kirema Allah, kisoboka bulungi omuntu okuloota endooto nga Allah y’agipanze naye n’eyita butereevu ku mwoyo gw’oyo aloota. Ekyo kibaawo Allah bw’aba ayagadde okukwekera ddala endooto eyo ebe ng’emanyiddwa gwe wekka agiroose.

Olw’ensonga eyo, Nabbi Muhammad (swallaLlaahu alaihi wasallama) kye yava atukubiriza obutamala ganyumya ndooto zaffe ennungi, kubanga sitaani ziyinza okuzibbirira. Mu ngeri endala, bw’olootanga endooto eya sitaani, nayo tokkirizibwa kuginyumya. Ebiseera ebisinga sitaani bw’akuloosa endooto embi, omuli nga okukunakuwaza oba etiisa, (sitaani) aba eyagala amanye oba ddala wanakuwadde oba watidde.

Sitaani agezaako nnyo bwe bukya okukulondoola alabe oba onaanyumya  bye waloose. Bw’alaba nga tobinyumya, amanya nti kye yaluubiridde okukunakuwaza oba okukutiisa kyaaganye okutuukirira, era ebiseera ebisinga okusirika okwo Allah ayisizaako ne zitaddayo kukunakuwaza oba okukutiisiza mu ndooto. Kino kiba kiraga nti era bw'olootanga endooto embi n'ogyerabira, togezangako kwekaka nti ojijjukire, kubanga ebiseera ebisinga Allah y'aba agikwerabizza.

Ekirala bw’ozuukuka nga ova mu ndooto eya sitaani, ofujja ku kkono emirundi essatu. Engeri sitaani gye zaagala ennyo oludda lwa kkono - okwawukana ku Allah ayagala ennyo olwa ddyo, sitaani bw’eva mu mubiri ng’ozuukuse, edda ku ludda lwo olwa kkono.

Omumanyi omu yagamba nti okufujja ku kkono, kuba kunyoomoolera ddala sitaani eyo na kugigoba y’eyongerereyo ddala, nga bwe kiri nti n'okufujjira omuntu amalusu kuba kumunyooma.

Oluvannyuma lw’okufujja ku kkono, osaba Allah akuwonye obubi bwa sitaani n’obubi obuli mu ndooto eyo gy’oba oloose, era okiddingana emirundi esatu ng'osoma  bw’oti:

 [أعُوْذُ بِاللهِ مِنَ الشَّيْطَانِ الرَّجِيْمِ وَمِنْ شَرِّ مَا رَأَيْتُ] ×۳

 Enjatuza y’edduwa:

“A’uudhu Bi-Llaahi Mina-Syaytwaani-Rrajiim, Wa-Min Sharri Maa Ra-ay’tu x3”.

 Amakulu gaayo

“Neewogoma ewa Allah amponye obubi bwa sitaani eyakolimirwa, era amponye obubi bw’ebyo bye ndabye”.

Ekyo bw’okikola oba olaga nti singa Allah si  kukukwatirako, gwe ng’omuntu tolina busobozi bugoba sitaani n’okuwona ky’eba ekwagaliza.  Ekibi ekyo ky’eba ekuloosezza era eba eyagala kikutuukeko.

Bw’oba onaddamu okwebaka, okyusa oludda lw’obadde weebakiddeko ne weebakira ku lulala.

Ekyo okikola olw’ensonga Allah naye akukyusize mu mbeera eyo. Bw’atyo omumanyi omu bwe yakinnyonnyola nga bwe kiri mu kitabo ‘Al-Wiqaayat’ ekya Sheikh Abdu Ssalaam Waheed Baali. Ekisembayo, osobola okusaalayo esswala ya Raaka bbiri bw’oba oyagadde, era ekyo nakyo Allah akiyisizaako sitaani ezo ne zitakukosa. 

Eky’okufujja ku kkono kiri mu Hadiithi ya Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) eri mu (Swahiih Muslim: Vol 4 Hadiithi No.1772). Ate eky’okusaba  Allah akuwonye obubi bwa sitaani n’obubi bw’endooto eyo, kiri mu (Swahiih Muslim: Vol 4. Hadiith No.1773) nabwekityo eky’okusaalayo Raaka ebbiri.

Saagala kugenda nyo mu bya ndooto, ekikulu kiri nti endooto ezimu ziyita ku muzimu gw’oyo aba aloota. Wabula bw’oba weekuumira mu kutya Allah, ofuna obukuumi n’otaloota  ndooto za sitaani zikukosa, naye bwe weesuulirayo gwa nnaggamba, oyinza okwesanga  mw’abo abatugibwa amajiini mu tulo.

 OKUMALIRIZA

Ekitabo kino ekikwata ku ‘Ebifa ku Muzimu’ nsazeewo nkikomye wano. Nsuubira ngezezzaako okunnyonnyola ebintu ebikulu ku nsonga eno. Siyinza kugamba nti byonna mbimazeeyo, wabula nsuubira ebikulu mu byo mbiwandiiseeko. Njagadde nnyo Abasiraamu bamanye ebifa ku kitonde kino, kubanga obutakimanya kwe kuvaako okukisinza ne tutasinza Allah eyakitonda, era obutakitegeera bulungi, kituma abantu okuwakanya amazuukira, anti baba balaba nga bbo gwe bayita omwoyo (omuzimu) tegubandaala 'magombe'. Nsaba Allah ow'ekisa ekingi akinfuulire eky'omugaso ennyo eri Abasiraamu, era akinfuulire Ilimu eringsasa oluvannyuma lw'okufa. Amiina.

EBITABO EBIRALA EBY’OMUWANDIISI

1.          Ebifa ku majiini

2.          Ebifa ku muzimu

3.          Okwejjanjaba eddogo n'ekiiso mu Busiraamu.

4.          Omusiraamu by’ateekwa okumanya nga tannasomerwa Ruqya

5.          Majini  katika Uislamu

6.          Mzimu wa mfu (rohani) ni nini?

7.          Kujitibu uchawi na kijicho Kiislamu

8.          Yanayompasa Mwislamu kujuwa kabla hajasomewa Ruq'ya.

9.          Facts about spirits from an Islamic perspective

10.      How sorcery is treated in Islam.

11.      Weeyigirize Hadiithi 500 entuufu. (Kirimu ebitundu10).

12.      Ebigasa Omusiraamu oluvannyuma lw’okufa (part 1-)

13.      Ebigasa Omusiraamu oluvannyuma lw’okufa (part 11).

14.      Okusaalira jeneza mu Busiraamu

15.      Okuziika mu Busiraamu

16.      Okulambula entaana mu Busiraamu okwakkirizibwa n’okwagaanibwa.

17.      Okuwerekera jeneza, okukubagiza n'okukungubaga.

18.      Ensaala y’omulwadde.

19.      Esswala y’ekiro.

20.      Ennaaba ya ‘Janaba’.

21.      Wuzu ya Nnabbi (saw) nga olinga amulaba

22.      Ennyambala y’omusajja Omusiraamu.

23.      Ennyambala y’omukyala Omusiraamu.

24.      Obubonero bw’enkomerero obunene.

25.      Obubonero bw’enkomerero obutono.

26.      Okusala ekirevu kiramulwa kitya?

27.      Okwekuuma sitaani mu maka g’Omusiraamu.

28.      Okunnyonnyola amannya ga Allah amalungi.

29.      Okwewala amazambi g’olulimi 40 (Part 1)

30.      Okwewala amazambi g’olulimi 40 (Part 11)

31.      Ensaala ya Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasalla) ng’olinga amulaba.

32.      Olukomera lw’Omusiraamu mu maka ge.

33.      Okugolola ensobi (50) mu sswala ne wuzu (part 1).

34.      Okugolola ensobi (50) mu sswala ne wuzu (part 11)

35.      Okugolola ensobi (50) mu sswala (part 111)

36.      Okugolola ensobi 40 abasiibi abamu ze bagwamu n'ebirala.

37. Ensonga 27 Allah kw’asinziira n’asonyiwa abaddu be ebibi