Obujjuvu bw'eddiini n'akabi k'okujizuuliramu
Kyawandiikibwa Shk.
Muhammad bun Swaleh UthaimeenAllah amusaasire
Ku lwerinnya lwa Allah omusaasizi ennyo owekisa ekingi
Ebitendo byonna ebirungi bya Allah, tumutendereza ne tumusaba okutuyamba, tumusaba okutusonyiwa era tumusaba atuwonye obubi bw’emitima gyaffe n’obubi bw’ebikolwa byaffe. Oyo yenna Allah gw’aba alungamizza teri asobola kumubuza, era gw’aba abuzizza teri asobola kumulungamya
Nkakasa (mu mutima gwange era ne njatula n’olulimi lwange), nti (mu biriwo byonna) teri kisinzibwa (mu butuufu) okujjako Allah yekka atalina kimugattibwako, era nkakasa (mu mutima gwange) nti Muhammad (yali) muddu we era Mubaka we, Allah yamutuma n'obulunngamu n'eddiini ey'amazima, n'atuusa obubaka (obwamutumwa) era natuukiriza obuvunaanyizibwa, n'abuulirira ekibiinakye, era n'anyinkira mukkubo lya Allah olunyinkira olwamaanyi okutuusa okufa bwekwamujjira
N'aleka (abantu) be kibiinakye ku kkubo eggumu eryeru alibaddeko ekiro alinga alibaddeko emisana, teri n'omu alyawukanako okujjako nga azikirira, yannyonnyola mulyo byonna abantu bekibiinakye kyebetaaga mumbeera zobulamu bwaabwe zonna okutuusa Abu tharri -Allah yasiima kuye bweyagamba nti:Teyalekayo Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kinyonyi kyonna kibuukira mubbanga (mubwengula) okujjako nga yatubuulira okumanya kukyoEra omusajja omu mubashiriku n'agamba Salimaan al-faaris -Allah yasiima kuye- nti:Nabbi wammwe yabayigiriza buli kintu kyonna kazibe empisa z'okumala ekyetaago?Namugamba nti ye, kyova olaba nti mazima yatugaana okwolekera ekibula (kaabah) nga tumala ekyetaago ekinene (obubi) oba ekyetaago ekitono (omukojobo) oba okwetukuza n'amafunfugu agakka wansi w'asatu, oba okwetukuza (okusitanja) n'omukono ogwaddyo oba okwetukuza nga tukozesa obusa oba eggumbaEra mazima ggwe ojja kulaba Qura'an eyekitiibwa Allah yannyonnyola muyo ebikolo by'eddiini n'amatabi g'eddiini, nannyonnyola okwawula Allah (Tawuhiid) nemiteeko gye gyonna, nannyonnyola buli kimu kazibe empisa zokutuuwa awamu munkungaana n'okusaba olukusa, Allah yagamba:
﴿يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَكُمۡ تَفَسَّحُواْ فِي ٱلۡمَجَٰلِسِ فَٱفۡسَحُواْ يَفۡسَحِ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ... ﴾ [المجادلة: 11]
{Abange mmwe abakkiriza bwemubanga mugambiddwa nti: Mwefunzefunze mugaziyize bannamwe ekifo (munkungaana), bwe mutyo mubagaziyizinga ekifo; Allah naye ajja kubagaziyiza (ekifo mu nsi ne mubulamu obw'oluvannyuma)}
Surat mujaadalah a'ya 11
Era Allah nagamba
﴿يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَدۡخُلُواْ بُيُوتًا غَيۡرَ بُيُوتِكُمۡ حَتَّىٰ تَسۡتَأۡنِسُواْ وَتُسَلِّمُواْ عَلَىٰٓ أَهۡلِهَاۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ٢٧ فَإِن لَّمۡ تَجِدُواْ فِيهَآ أَحَدٗا فَلَا تَدۡخُلُوهَا حَتَّىٰ يُؤۡذَنَ لَكُمۡۖ وَإِن قِيلَ لَكُمُ ٱرۡجِعُواْ فَٱرۡجِعُواْۖ هُوَ أَزۡكَىٰ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ٢٨﴾ [النور: 27-28]
{Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga mu nnyumba ezitali zammwe okutuusa lwe mumalanga okusaba okubakkiriza nemulamusa eri bannannyinizo (bwe bakkiriza olwo ne mulyoka muyingira). Ekyo kye kirungi kummwe, kyaddaaki ne mujjukira** Bwe mubanga temusanzeemu muntu n'omu temuyingiranga okutuusa lwe mukkirizibwanga, bwe mubanga mugambiddwa nti: muddeeyo, muddangayo (nemutayingira) kubanga ekyo kyekisinga obulungi obutukuvu gye muli ne Allah amanyi ebyo bye mukola}
Surat Nuur a'ya 27-28
Era natuyigiriza empisa zokwambala Allah owekitiibwa yagamba:
﴿وَٱلۡقَوَٰعِدُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ ٱلَّٰتِي لَا يَرۡجُونَ نِكَاحٗا فَلَيۡسَ عَلَيۡهِنَّ جُنَاحٌ أَن يَضَعۡنَ ثِيَابَهُنَّ غَيۡرَ مُتَبَرِّجَٰتِۭ بِزِينَةٖۖ ...﴾ [النور: 60]
{N'abakyala abatudde nga (beekuumye abakuze) abo abatakyasuubira kufumbirwa, tebalina kibi okuggyamu engoye zaabwe (ez'okungulu) kyokka nga tabajaajaala na byakwenyiriza}Surat Nuur a'ya 60
﴿يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ وَبَنَاتِكَ وَنِسَآءِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ يُدۡنِينَ عَلَيۡهِنَّ مِن جَلَٰبِيبِهِنَّۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن يُعۡرَفۡنَ فَلَا يُؤۡذَيۡنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا٥٩﴾ [الأحزاب: 59]
{Owange ggwe Nabbi! Gamba bakyala bo ne bawala bo n'abakyala b'abakkiriza beebikkirirenga enkaaya zaabwe (bwe babanga batambudde okuva mu maka gaabwe) ekyo kyekisembeza okubamanya (nti bakitiibwa era ba nsa) ne batanakuwazibwa, ne Katonda yali Omusonyiyi Omusaasizi}
Surat Al-ahzaab a'ya 59
﴿... وَلَا يَضۡرِبۡنَ بِأَرۡجُلِهِنَّ لِيُعۡلَمَ مَا يُخۡفِينَ مِن زِينَتِهِنَّۚ ...﴾ [النور: 31]
{Era tebaggundanga (wansi) amagulu gaabwe ku lw'okumanya ebyo ebikisibwa mu byokwenyiriza kwabwe}Surat Nuur a'ya 31
﴿...وَلَيۡسَ ٱلۡبِرُّ بِأَن تَأۡتُواْ ٱلۡبُيُوتَ مِن ظُهُورِهَا وَلَٰكِنَّ ٱلۡبِرَّ مَنِ ٱتَّقَىٰۗ وَأۡتُواْ ٱلۡبُيُوتَ مِنۡ أَبۡوَٰبِهَاۚ ...﴾ [البقرة: 189]
{Era ssi kirungi okujja mu nyumba nga muyita emabega waayo, naye obulungi bw'oyo atya Katonda, Kale mujjenga mu mayumba nga muyita mu miryango gyago}Surat Baqarah a'ya 189
Ne a'yaati endala ezitali zimu enkumu ezo ezinnyonnyolwa nazo eddiini eno ebuna enzijuvu etetaaga kwongererwamu nga era bwekitetaagisa kukendeza muyo, yensonga lwaki Allah yagamba nga atenda Qura'an:
﴿...وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ تِبۡيَٰنٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ ...﴾ [النحل: 89]
{Era tussa kuggwe ekitabo (Qur'aan) kulwokunnyonnyola buli kintu}Surat Nahali a'ya 89
Teri kintu kyonna abantu kyebetaaga mumbeera zaabwe mwewabangaalira okujjako nga Allah yazinnyonnyola mu kitabo kye nakyogerako butereevu kyo kyennyini oba nalaza bulaza kukyo, oba munjatula oba muntegeeraAbange aboluganda: Mazima abantu abamu bavvunula ekigambo kya Allah ekigamba nti
﴿وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا طَٰٓئِرٖ يَطِيرُ بِجَنَاحَيۡهِ إِلَّآ أُمَمٌ أَمۡثَالُكُمۚ مَّا فَرَّطۡنَا فِي ٱلۡكِتَٰبِ مِن شَيۡءٖۚ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يُحۡشَرُونَ ٣٨﴾ [الأنعام: 38]
{Tewali mubitambula (ebiramu) mu nsi wadde ennyonyi ebuuka n'ebiwawaatiro byayo wabula bibiina ebifaanana nga mmwe, Tetwalekayo mu kitabo kintu kyonna}Surat Ani'am a'ya 38
Evvunulwa ekigambo kye:
{Tetwalekayo mu kitabo kintu kyonna}nti mazima ekitabo ekyogerwako wano ye Qur'aan, songa ate ekituufu kiri nti mazima ekigendererwa mu kitabo wano lwe lubaawo olukuumibwa (lawuhu mahafuudh) naye ate yo Qur'aan mazima Allah owekitiibwa yagitenda nekitendo ekisinga kwekyo ekyokugaana bweyagamba nti:{Era tussa kuggwe ekitabo (Qur'aan) kulwokunnyonnyola buli kintu}(Ekitendo) ekyo kyeyolefu era kinnyonnyofu okusinga ekigambo kye ekigamba nti:{Tetwalekayo mu kitabo kintu kyonna, n'oluvannyuma eri Katonda waabwe gye balikunngaanyizibwa}
Oba ali awo omu ayinza okugamba nti abaffe wa wetusanga omuwendo gw'eswalah ettano mu Qur'aan?
n'owendo (gwa rakaa) ya buli swalah mu Qur'aan?
Era kisoboka kitya okutereera nga mazima tetulina wetusanga mu Qur'aan kunnyonnyola muwendo gwa raka'a zabuli swalah nga ate Allah agamba:
﴿... وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ تِبۡيَٰنٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ ...﴾ [النحل: 89]
{Era tussa kuggwe ekitabo (Qur'aan) kulwokunnyonnyola buli kintu}
Okuddamu kwekyo kuli nti mazima Allah yatunnyonnyola mukitabokye (Qur'aan) nti mazima mubimu ebyetteeka gyetuli kwekutwala ebyo Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuye byeyagamba nebyo byeyatulagirira gyebiri
﴿مَّن يُطِعِ ٱلرَّسُولَ فَقَدۡ أَطَاعَ ٱللَّهَۖ وَمَن تَوَلَّىٰ فَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ حَفِيظٗا٨٠﴾ [النساء: 80]
{Omuntu bw'agondera Omubaka aba agondedde Katonda: N'oyo akyuka, tetukutumanga ggwe kubeera mukuumi waabwe}Surat Nisa-e a'ya 80
﴿... وَمَآ ءَاتَىٰكُمُ ٱلرَّسُولُ فَخُذُوهُ وَمَا نَهَىٰكُمۡ عَنۡهُ فَٱنتَهُواْۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ٧﴾ [الحشر: 7]
{N'ekyo kyonna Omubaka (kyabaleetera oba ky'abawa), mukitwalenga, N'ekyo ky'abagaananga, kukirekengayo (mukyewalenga) Mutyenga Katonda. Mazima Katonda alina ebibonerezo ebiyitirivu}Surat Hashir a'ya 7
Buli kyonna Sunnah kyeyannyonnyola mazima Qur'aan yakiragirirako kubanga mazima sunnah kitundu kumiteeko gyobubaka Allah bweyassa ku mubakawe era nabumuyigiriza nga Allah bweyagamba:
﴿... وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا ١١٣﴾ [النساء: 113]
{Nga Katonda yassa ku ggwe ekitabo n'amateeka n'akuyigiriza n'ebyo bye wali tomanyi, ekisa kya Katonda ky'alina ku ggwe kiyitirivu}Surat Nisa-e a'ya 113
N'okusinziira kwebyo buli kyajja mu sunnah kyajja mu kitabo kya Allah owekitiibwa
Abange abolugnda bwemubanga ekyo mukitegedde, abaffe Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kisoboka okubanga yafa nga waliwo ekintu kyonna mu ddiini (omuntu) kyasembera nakyo eri Allah nga takinnyonnyodde?
Naye ekyo tekisoboka nakamu kubanga Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yannyonnyola eddiini yonna oluusi nebigambobye, oba nebikolwabye, oba okukkiriza ekikoleddwa nakimanya, oba okukitandikawo, oba okuddamu ekibuuzo ekimubuuziddwaEbiseera ebimu Allah yatumanga omusajja munnamalungu n'abava ebuziba muddungu okujja eri Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- amubuuze ku kintu kyonna munsonga z'eddiini nga tekimubuuziddwa swahaabah yenna kwabo abaali kulusegere lw'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kyova olaba nti b'asanyukanga nnyo nga waliwo munnamalungu azze n'abuuza Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ebibuuzo ebyenjawuloEra ebimu kubikulaga nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- talina kintu kyonna mwebyo abantu byebetaaga mukusinza kwabwe, nemunkolagana wakati waabwe, nemumpangaala yabwe okujjako nga yakinnyonnyola n'obujulizi kwekyo kyekigambo kya Allah ekigamba nti:
﴿... ٱلۡيَوۡمَ أَكۡمَلۡتُ لَكُمۡ دِينَكُمۡ وَأَتۡمَمۡتُ عَلَيۡكُمۡ نِعۡمَتِي وَرَضِيتُ لَكُمُ ٱلۡإِسۡلَٰمَ دِينٗاۚ ...﴾ [المائدة: 3]
"Olwaleero mbajjuliza eddiini yammwe era nembajjuliza n'ekyengera kyange nembasiimira mmwe obusiraamu okuba eddiini"Surat Maa-idah a'ya 3
Ekyo bwekibanga kitegeerekese gy'oli owange omusiraamu, manya nti mazima buli yenna azuula amateeka gonna mudiini ya Allah kaabe nga akikoze nekigendererwa ekirungi, mazima okuzuulakwe okwo awamu n'okuba nti bubuze kutwalibwa okuba nti kukuba bituli muddiini ya Allah owekitiibwa, n'okuba nti kulimbisa Allah owekitiibwa mukigambokye ekigamba nti:"Olwaleero mbajjuliza eddiini yammwe"
Kubanga Mazima omuzuuzi oyo (Munnabidi-a) eyazuula amateeka mu diini ya Allah ebyo ebitali muddiini ya Allah nga alinga agamba nti eddiini teyajjula nkendeevu kubanga waliwo amateeka agasigaddewo gyali ago gazuulawo gasembeera nago eri Allah owekitiibwa
Nebimu kubyewunyisa ye muntu okutandika okuzuula ekintu ekikwaata kubwennyini bwa Allah owekitiibwa n'amannyage n'ebitendobye, oluvannyuma nagamba nti mazima muli awa Omuleziwe ekitiibwa, era nti mazima mwekyo atukuza Omuleziwe (obutaba nabukendenvu byonna) era nti mazima ddala mwekyo ateeka munkola ekigambo kya Allah ekigamba nti:
﴿... فَلَا تَجۡعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ٢٢﴾ [البقرة: 22]
{Kale temuteekanga ku Katonda Omutonzi bakatonda ab'obulimba nga nammwe mumanyi (nti tewali Katonda abagabirira wabula ye)}Surat Baqarat a'ya 22
Era mazima osobola okwewuunya oyo yenna azuula ekizuusi kyonna muddiini ya Allah ebyo ebikwata ku bwennyini bwa Allah ebitali mwabo abolongoofu abasooka mukibiina kino wadde ba Imaam bakyo oluvannyuma nagamba nti mazima ayawula era natukuza Allah obutaba nabukendenvu bwonna era nti mazima agulumiza Allah era nti mazima nti ye ateeka munkola ekigambo kya Allah ekigamba nti:{Kale temuteekanga ku Katonda Omutonzi bakatonda ab'obulimba}Era nti mazima yenna ayawukana kwekyo yafaananya era agerageranya Allah n'ebintu ebirala, oba amannya amapaatiike
Nga era bwoyinza okwewuunya abantu abazuula muddiini ya Allah ebitali bya muyo mwebyo ebikwata ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nebeeyita olwekyo nti bbo be b'agala Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era nti mazima bbo bebagulumiza omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era nti mazima yenna atakkiriziganya nabo mukuzuula kwabwe okwo mazima anyiiza omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nebirala ebiringa ebyo mumannya amapaatiike gebayita oyo yenna atakkiriziganya nabo mukuzuula kwabwe mwebyo ebikwata ku mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye-
Era ekyewunyisa nti mazima abantu abafaanana nga abo bagamba nti ffe abagulumiza Allah n'Omubakawe, songa bwebazuula muddiini ya Allah ne mumateekage ago geyajja nago Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mwebyo ebitali bya muyo, mazima bbo awatali kubuusa buusa beyitiriza mukati mu mikono gya Allah n'omubakawe ate nga Allah yagamba:
﴿يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيِ ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ١﴾ [الحجرات: 1]
{Abange mmwe abakkiriza! (Temweyitirizanga) ne mwekulembezanga mu mu maaso ga Katonda n'Omubaka we, wabula mutye Katonda, mazima Katonda awulira amanyi}Surat Hujiraat a'ya 1
Abange baganda bange: mazima nze mbasaba era nembakowoola kulwa Allah owekitiibwa era nga njagala kubeere okukwanukula kwammwe nga kuva kuntobo y'emitima gyammwe so ssi kungulu wammwe (mu mbeera zammwe), mu bimu kubinunaanwa byeddiini yammwe, so ssi mubinaanwa by'okugoberera kwammwe, Mugamba ki kwabo abazuula muddiini ya Allah ebyo ebitali bya muyo sinsonga mwebyo ebikwata ku bwennyini bwa Allah n'ebitendo bye n'amannyage oba mwebyo ebikwata ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate oluvannyuma nebagamba nti ffe abagulumiza era abawa Allah n'Omubakawe ekitiibwa abaffe abo basaanira okuba abagulumiza Allah n'Omubakawe?
Oba (abasaanira ekyo) be b'abantu abo abatataambulira ku mateeka ga sharia wadde oluta lumu bweruti, bagamba kwebyo sharia byeyajja nabyo nti twakkiriza era n'etukakasa mwebo byeyatubuulira era tuwulidde netugondera ebyo byeyatulagira okukola oba byeyatugaana okukola, era nebagamba kwebyo Sharia bwetajja nabyo nti tubyesembye era netubireka, tetutekeddwa kweyitiriza mumaaso ga Allah n'Omubaka we, era tekitugwanidde kugamba muddini ya Allah kintu kyonna ekitali kya muyo, abaffe baani abalina okwagala Allah n'Omubakawe okwannamadda, era abagulumiza Allah n'Omubakawe?
Tewali kubuusabuusa nti mazima abo abagamba nti tukkirizza era netukakasa ebyo byonna (Omubaka) byeyatubuulira, era tuwilidde ne tugondera ebyo byeyatulagira okukola, era nebamba nti tuleseeyo byonna byeyatugaana okukola era tumaze byonna ebitaatulagirwa kukola, nabagamba nti ffe tetulina kyetuli okutuuka okuteeka mu sharia ya Allah ebitali bya muyo, oba okuzuula mudiini ya Allah, teri kubuusabuusa nti mazima abo beebo abaamanya wa webakoma era nebamanya obuyinza bw'Omutonzi waabwe, abonno be bagulumiza Allah owekitiibwa n'Omubakawe era beebo abaayolesa okwagala kwabwe okwamazima eri Alla n'Omubaka we -okusaasira n'emirembe bibeere kuye-
So ssi (abaagala Allah n'Omubaka we) abo abazuula mu ddiini ya Allah ebyo ebitali byamuyo munzikiriza, oba mubigambo oba mubikolwa, era mazima wewuunya abantu abamu abamanyi ekigambo ky'Omubaka wa Allah-okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ekigamba nti: "Mbeekesa ebintu ebiguunje, kubanga mazima buli kigunjiddwa muddiini kizuule (bidiat) era buli kizuule bubuze, ate buli bubuze bwamumuliro"nga bakimanyi nti mazima ekigambokye"Buli kizuule"Kigazi kibuna era nga kyekimu kunnyingo ezaamanyi eziraga obugazi n'okubunaBuli (kintu)Era nga eyayogera okubuna okwo -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- amanyi bulungi enjogera eyo kyekitegeeza era nga yasinga ebitonde byonna okumanya olulimi oluwalabu, era yasinga okubuulirira n'okuwabula ebitonde byonna talina kigambo kyayogera okujjako nga ategeeza amakulu gaakyo, nabwekityi Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- beyagamba nti:Buli kizuule (mudiini) bubuzeYali amanyi bulungi kyayogera, era yali amanyi amakulu gekyo kyayogera, era nga ebigambo ebyo byamuvaamu mubeera eyokubuulirira okujjuvu eri Ummah (ekibiina kye)Ate singa ebintu bisatu bituukirira mubigambo byonna: Obujjuvu bwokubuulira, n'obujjuvu bw'okunnyonnyola n'okumanya olulimi, n'obojjuvu bw'okumanya, kitegeezanti ebigambo ebyo bigendererwamu amakulu ago agabirimu, abaffe oluvannyuma lwokubuna okwo kiba kituufu ate ffe okutandika okuteekulula mubizuule (bidiat) emiteeko esatu oba emiteeko etaano?
Nedda ekyo tekisoboka kuba kituufu, era Abamanyi abamu byeboogera nti waliwo okuzuula okulungi tebisukka mbeera yamirundi ebiri:
Okuba nti si bidiat naye bbo nebalowooza nti bidiat
Oba okuba nti bidiat nga mbi naye nga bbo tebamanyi bubiibwe
Buli kintu kyonna kyebayita nti kuzuula okulungi (bidiat hasani) okwanukula kukyo kwekwo. nolwekyo tewali kyanya kyonna eri bazuuzi (bannanyi kuzuula muddiini) okuteekulula mukuzuula nti kuno kuzuula kulungi nga ate ffe tuli ekitala ekyo ekyogi okuva ku Mubakawa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye-Buli kizuule bubuzeMazima ekyokulwanyisa ekyo ekyogi kyakolebwa mu kkolero eryobutume n'Obubaka, so tekyakolebwa mu makolero agabuusibwabusibwa, wabula kyakolebwa mu makolero gw'Obutume (obwannabbi) ate era Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nabyogera mungeri yabukugu, kale tekisoboka eri oyo yenna alina ekyokulwanyisa ekyamaanyi bwekityo ate kwenngangibwa nakizuule, nga agamba nti mazima kirungi ate nga Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- agamba nti: "Buli kizuule (muddiini) bubuze"Mazima ninga awulira nti mu mitima gyammwe mulimu okwawukana, agamba kyemugamba ku mukulembeze wa bakkiriza Umar bun al-khatwaab -Allah yasiima kuye- ekituufu mukiseera bweyalagira Ubayyi bun Kaabu ne Tammi al-ddaary okusaazanga abantu ekiro mu ramadhan, nafuluma nga abantu bonna bakunganidde mabega wa Imaam waabwe nagamba nti:Ekyengera ky'okuzuula kino, naye eyeebase muffe asinga obulungi kwabo abayimiridde (nebasaala ne Imaam)Okwanukula kwekyo kwangeri bbiri:Ekisooka: Tekikkirizibwa eri muntu yenna kuwakanya bigambo bya Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- (nga yeyambisa) ebigambo bya Abubakar oyo asinga abantu bekibiina kino obulungi oluvannyuma lwa Nabbi, wadde (okweyambisa) ebigambo bya Umar oyo owokubiri mubulungi mu kibiina kino oluvannyuma lwa Nabbi wakyo, oba ebya Uthmaan oyo owokusatu mubulungi mu Ummah eno okuvannyuma lwa Nabbi, wadde n'ebigambo bya Ali oyo owokuna mubulungi mu Ummah eno oluvannyuma lwa Nabbi oba nebigambo by'omuntu yenna atali bbo kubanga Allah yagamba:
﴿... فَلۡيَحۡذَرِ ٱلَّذِينَ يُخَالِفُونَ عَنۡ أَمۡرِهِۦٓ أَن تُصِيبَهُمۡ فِتۡنَةٌ أَوۡ يُصِيبَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ٦٣﴾ [النور: 63]
{Era bateekwa beekeke abo abaawukana ku kiragiro kye okubatuukako akabi oba ebibonyobonyo ebiruma}Surat Nuur a'ya 63
Imaam Ahmad Allah amusaasire yagamba:Owange omanyi effitina (ekikemo) kye ki?Effitina / ekikemo ye shirik (kwekugatta ku Allah) oba oli awo nga bwazzaayo ebimu kubigambo bya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- afuna mumutima gwe okuseerera n'azikiriraAhEra Ibun Abbaas -Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba:Kabulako katono amayinja okukka kummwe okuva muggulu, mbagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nemugamba nti: Yagamba Abubakar ne UmarEkyokubiri: Mazima tumanyi okumanya okukakafu nti omukulembeze wabakkiriza Umar bun al-khatwaab -Allah yasiima kuye- y'omu kubantu abasiinga okugulumiza n'okuwa ekitiibwa ebigambo bya Allah n'Omubakawe -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era yali mwatikirivu n'okuyimirira ku nsalo salo zamateeka ga Allah wezikoma okutuusa okuba nti yali atendebwa nti yali akoma/ ayimirira ebigambo bya Allah webikoma, nga bwekiri mukyafaayo ky'omukyala eyamuwakanya bweyali ayagala okukomeka amahale (okugaasako ekkomo) omukyala namuwakanya nekyokuba nti mubusiraamu amahale gakkirizibwa obutamanyibwa nga Allah bweyagamba:
﴿وَكَيۡفَ تَأۡخُذُونَهُۥ وَقَدۡ أَفۡضَىٰ بَعۡضُكُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ وَأَخَذۡنَ مِنكُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا ٢١﴾ [النساء: 21]
{Ngeri ki bwe mugimuggyako (ne mugyeddiza) nga ate yatuuka omu kummwe eri munne, ne baggya ku mmwe (abakyala abo) endagaano enzito (ey'obufumbo n'okutuumagana mu ddembe)}Surat Nisaai a'ya 21
Bwatyo Umar nalekayo kyeyali ayagala okukola ekyokussa ekkomo ku mahaleNaye ekyofaayo ekyo kirimu enkenyera mubutuufu byakyo wabula ekigendererwa mukyo kunnyonnyola nti Umar yali akoma ku nsalo salo z'amateeka ga Allah wezikoma, nga tazisukka, kale tekigwanira muntu nga Umar -Allah yasiima kuye- nga bweyali ate okwawukana ku bigambo bya Nabbi Muhammad -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nayogera ebizuuleOkuzuula okulungiNekibanti okwo kwekuzuula Omubaka -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kweyali ategeeza mubigambo bye nti:"Buli kizuule (muddiini) bubuzeWabuli tulina okuddira okuzuula Umar kweyayogera nti kyengera ekizuule nti tekuyingira wansi w'omuteeko gwokuzuula Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- gweyali ategeeza mubigambo byee nti:"Buli kizuule (muddiini) bubuzeUmar -Allha yasiima kuye- yali alaza mubigambo bye nti ekyengera kyokuzuula kukunnganira kwabantu emabega wa Imaam omu oluvannyuma lw'okubanti baali (basaala) beyawuddeAtenga ensibuko y'okuyimirira ekiro mu Ramadhan eva mu Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kyakakata mu swahahiih bukhar ne swahiih muslim mu hadiithya Aisha -Allah yasiima kuye- nti Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yayimirira n'asaasa abantu mu Ramadhan ebiro bisatu nakerewa kukiro ekyokusatu nabagamba nti:"Mazima natidde okulaalika kummwe (okusaala talawuya) nemulemererwa okutuukiriza"
Imaam Ahmad Allah amusaasire yagamba:
Owange omanyi effitina (ekikemo) kye ki?
Effitina / ekikemo ye shirik (kwekugatta ku Allah) oba oli awo nga bwazzaayo ebimu kubigambo bya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- afuna mumutima gwe okuseerera n'azikirira
Ah
Era Ibun Abbaas -Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba:
Kabulako katono amayinja okukka kummwe okuva muggulu, mbagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nemugamba nti: Yagamba Abubakar ne Umar
Ekyokubiri: Mazima tumanyi okumanya okukakafu nti omukulembeze wabakkiriza Umar bun al-khatwaab -Allah yasiima kuye- y'omu kubantu abasiinga okugulumiza n'okuwa ekitiibwa ebigambo bya Allah n'Omubakawe -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era yali mwatikirivu n'okuyimirira ku nsalo salo zamateeka ga Allah wezikoma okutuusa okuba nti yali atendebwa nti yali akoma/ ayimirira ebigambo bya Allah webikoma, nga bwekiri mukyafaayo ky'omukyala eyamuwakanya bweyali ayagala okukomeka amahale (okugaasako ekkomo) omukyala namuwakanya nekyokuba nti mubusiraamu amahale gakkirizibwa obutamanyibwa nga Allah bweyagamba:
﴿وَكَيۡفَ تَأۡخُذُونَهُۥ وَقَدۡ أَفۡضَىٰ بَعۡضُكُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ وَأَخَذۡنَ مِنكُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا ٢١﴾ [النساء: 21]
{Ngeri ki bwe mugimuggyako (ne mugyeddiza) nga ate yatuuka omu kummwe eri munne, ne baggya ku mmwe (abakyala abo) endagaano enzito (ey'obufumbo n'okutuumagana mu ddembe)}
Surat Nisaai a'ya 21
Bwatyo Umar nalekayo kyeyali ayagala okukola ekyokussa ekkomo ku mahale
Naye ekyofaayo ekyo kirimu enkenyera mubutuufu byakyo wabula ekigendererwa mukyo kunnyonnyola nti Umar yali akoma ku nsalo salo z'amateeka ga Allah wezikoma, nga tazisukka, kale tekigwanira muntu nga Umar -Allah yasiima kuye- nga bweyali ate okwawukana ku bigambo bya Nabbi Muhammad -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nayogera ebizuule
Okuzuula okulungi
Nekibanti okwo kwekuzuula Omubaka -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kweyali ategeeza mubigambo bye nti:
"Buli kizuule (muddiini) bubuze
Wabuli tulina okuddira okuzuula Umar kweyayogera nti kyengera ekizuule nti tekuyingira wansi w'omuteeko gwokuzuula Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- gweyali ategeeza mubigambo byee nti:
"Buli kizuule (muddiini) bubuze
Umar -Allha yasiima kuye- yali alaza mubigambo bye nti ekyengera kyokuzuula kukunnganira kwabantu emabega wa Imaam omu oluvannyuma lw'okubanti baali (basaala) beyawudde
Atenga ensibuko y'okuyimirira ekiro mu Ramadhan eva mu Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kyakakata mu swahahiih bukhar ne swahiih muslim mu hadiithya Aisha -Allah yasiima kuye- nti Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yayimirira n'asaasa abantu mu Ramadhan ebiro bisatu nakerewa kukiro ekyokusatu nabagamba nti:
"Mazima natidde okulaalika kummwe (okusaala talawuya) nemulemererwa okutuukiriza"
Okuyimirira ekiro mu Ramadhan wamu mu jama'a kya munkola (sunnah) y'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- Umar -Allah yasiima kuye- nakiyita okuzuula lwakuba nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bweyalekayo okuyimirira/ okusaaza abantu mujjama mu Ramadhan abantu batandika okusaala kinnakimu nga buli omu asaala yekka kululwe n'omulala nga ayimirira nasaala nga ali n'omuntu omulala n'omulala n'asaala n'abasajja babiri abasaala ekibinja nabasaala kinna kimu omukulembeze wabakkiriza Umar -Allah yasiima kuye- bwalaba ensonga eyo nalabirira wala kwekusalawo abagatte basaalire emabega wa Imaam omu nekiba ekikolwa ekyo kyeyako okusinziira kunneyawula y'abantu bweyali okuba okuzuula kwokugatta so ssi kuzuula okutwalira awamu okwokussa muddiini ekitali kya muyo ekitandikidwawo Umar -Allah yasiima kuye- kubanga enkola eno yaliwo okuva ku mulembe gwa Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- okutuusa Umar -Allah yasiima kuye-bweyagizza obujja nolwekyo tetusobola n'akamu kukkiriza bannanyini kuzuula muddiini kwesembesa bigambo bya Umar bino okulungiya okuzuula kwabwe muddiini
Omuntu omu ayinza okugamba nti: naye ate waliwo ebintu ebizuule abasiraamu byebakkiriza era nebabikolerako songa ate byali tebimanyiddwa kumulembe gwa Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- okugeza nga amasomero, n'okutunga ebitabo, n'ebintu ebirala ebigwa mukkowe eryo, ebintu ebyo ebizuule abasiraamu babifuula ebirungi nebabikolerako nebala nti mazima biri mubintu ebirungi, kati butya bwetugatta wakati webyo ebirabika nga kumpi byegattibwako abasiraamu newakati webigambo by'omukulembeze wabasiraamu newakati w'ekigambo kya Nabbi wabasiraamu N'omubaka w'Omulezi webitonde byonna -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ekigamba nti:
"Buli kizuule kyonna (muddiini) bubuzeOkuddamu kwekyo tugamba nti ekyo mubiriwo si kuzuula muddiini (bidiat) wabula eryo kkubo eriyitwamu okutuukiriza ekyo ekyalalikwa, ate nga amakubo g'awukana okusinziira kubiseera n'ebifo, ezimu kunnyingo enkakafu, kwekuba nti mazima amakubo galina ennamula yebigendererwa kati amakubo agakutuusa kubyalagira nago g'alagirwa, namakubo agatukuusa kyebyo ebitaalagirwa nago tegaalagira songa namakubo agakutuusa kubyaziyizibwa nago g'aziyizibwa, nekirungi bwekiba nga kkubo erikutuusa eri ekibi nakyo kigaananibwa, wuliriza Allah owekitiibwa bwagamba nti:
﴿وَلَا تَسُبُّواْ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ فَيَسُبُّواْ ٱللَّهَ عَدۡوَۢا بِغَيۡرِ عِلۡمٖۗ كَذَٰلِكَ زَيَّنَّا لِكُلِّ أُمَّةٍ عَمَلَهُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِم مَّرۡجِعُهُمۡ فَيُنَبِّئُهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ١٠٨﴾ [الأنعام: 108]
{Temuvumanga abo be basaba abatali Katonda, kubanga bandivuma Katonda ku lw'obulumbaganyi awatali ku manya}Surat An'aami a'ya 108
"Buli kizuule kyonna (muddiini) bubuze
Okuddamu kwekyo tugamba nti ekyo mubiriwo si kuzuula muddiini (bidiat) wabula eryo kkubo eriyitwamu okutuukiriza ekyo ekyalalikwa, ate nga amakubo g'awukana okusinziira kubiseera n'ebifo, ezimu kunnyingo enkakafu, kwekuba nti mazima amakubo galina ennamula yebigendererwa kati amakubo agakutuusa kubyalagira nago g'alagirwa, namakubo agatukuusa kyebyo ebitaalagirwa nago tegaalagira songa namakubo agakutuusa kubyaziyizibwa nago g'aziyizibwa, nekirungi bwekiba nga kkubo erikutuusa eri ekibi nakyo kigaananibwa, wuliriza Allah owekitiibwa bwagamba nti:
﴿وَلَا تَسُبُّواْ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ فَيَسُبُّواْ ٱللَّهَ عَدۡوَۢا بِغَيۡرِ عِلۡمٖۗ كَذَٰلِكَ زَيَّنَّا لِكُلِّ أُمَّةٍ عَمَلَهُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِم مَّرۡجِعُهُمۡ فَيُنَبِّئُهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ١٠٨﴾ [الأنعام: 108]
{Temuvumanga abo be basaba abatali Katonda, kubanga bandivuma Katonda ku lw'obulumbaganyi awatali ku manya}
Surat An'aami a'ya 108
N'okuvuma abashiriku byebeesinza sikyabulumbaganyi wabula mazima agali mukifo kyago wabula ate okuvuma Omulezi webitonde byonna kyabulumbaganyi ekitali mukifo kyakyo, era nga bulyazamaanyi, nabwekityo olwokuba nti okuvuma babatonda babashirikku ekiwaanibwa ate kiviirako ensonga y'okuvuma Allah, mwana wattu kyaziyizibwa era kyaganibwa, ndeese obujulizi buno kukulaga nti mazima amakubo galina akakwate kunnamula zebigendererwa, okugeza nga amasomero, n'okungaanya eyirimu wamu n'okutunga ebitabo newankubadde nga bizuule tebyaliwo kumulembe gwa Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mumbeera gyebirimu olwaleero naye ate tebigendererwa kuzuula muddiini wabula kubbo (eriyitibwamu okutuukiriza ebyalaalikwa), ate nga amakubo gaweebwa ennamula yebigendererwa byaago
Nabwekityo singa omuntu yenna azimba essomero asomesezemu yirimu eri haraamu (eyaziyizibwa) okuzimba kwe kuba haraamu naye ate singa azimba essomero okusomesezaamu yirimu ya sharia okuzimba kwe kukkirizibwa
Naye singa oli agamba nti: butya bwetwanukula ekigambo kya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ekigamba nti: "Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi ajja kufuna empeera yaayo, n'empeera z'oyo agikoleddeko okutuusa kulunaku lwenkomereroate nga atandikawo kitegeeza kuteeka teekaOkwanukula kwekyo kuli nti: mazima eyagamba nti: "Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"Era yeyagamba nti: "Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze"Ate nga tekisoboka muntu wamazima atendebwa namazima kufulumamu bigambo birimbisibwa nabwo bigambo byamulala, era tekisoboka bigambo bye kukontana nabigambo bya Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'akamu, wadde ebigambo okujjira mumakulu gamu nga bikontana, era yenna alowooza nti ebigambo bya Allah oba ebigambo by'Omubaka we -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bikontana addemu yetunulemu, kubanga okulowoozakwe okwo kuva kubukendeevu muye, oba kubukendeevu bwe, ate nga tekisoboka kusanga mubigambo bya Allah n'Omubakawe -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga bikontana n'akamuKale bwekiba bwekityo, okunnyonnyola kubutamenyawo hadiith egamba nti: "Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze" nga teyambisa hadiith egamba nti: "Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi" Kubanga mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba: "Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi" songa ate okuzuula sikwamubusiraamu, ate nagamba nti okulungiAte nga okuzuula sikulungi, era nga waliwo enjawulo nnene nnyo wakati w'okutandikawo n'okuzuula
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi ajja kufuna empeera yaayo, n'empeera z'oyo agikoleddeko okutuusa kulunaku lwenkomerero
ate nga atandikawo kitegeeza kuteeka teeka
Okwanukula kwekyo kuli nti: mazima eyagamba nti:
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"
Era yeyagamba nti:
"Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze"
Ate nga tekisoboka muntu wamazima atendebwa namazima kufulumamu bigambo birimbisibwa nabwo bigambo byamulala, era tekisoboka bigambo bye kukontana nabigambo bya Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'akamu, wadde ebigambo okujjira mumakulu gamu nga bikontana, era yenna alowooza nti ebigambo bya Allah oba ebigambo by'Omubaka we -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bikontana addemu yetunulemu, kubanga okulowoozakwe okwo kuva kubukendeevu muye, oba kubukendeevu bwe, ate nga tekisoboka kusanga mubigambo bya Allah n'Omubakawe -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga bikontana n'akamu
Kale bwekiba bwekityo, okunnyonnyola kubutamenyawo hadiith egamba nti:
"Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze"
nga teyambisa hadiith egamba nti:
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"
Kubanga mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba:
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"
songa ate okuzuula sikwamubusiraamu, ate nagamba nti okulungi
Ate nga okuzuula sikulungi, era nga waliwo enjawulo nnene nnyo wakati w'okutandikawo n'okuzuula
Waliwo okwanukula okulala tekulina buzibu: Nti mazima amakulu g'ekigambo oyo yenna atandikawo enkola ge; yenna azza obujja enkola ya Nabbi eyaliwo nevaawo oba neyelabirwa nagizza bujja, okusinziira kwekyo nekiba nga sunnah/ enkola yakugatta kukintu erina wekoma nga era okuzuula bwekuba nti kwakugatta kukintu nga kweyawulidde eri oyo azza obujja enkola oluvannyuma lwokuba nti yalekebwa
Waliwo okwanukula okwokusatu kwesembesebwa nensonga eyalesebwa hadiith eno nga nayo kyekyafaayo kyabantu abajja eri Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga baali mumbeere eyakanyigo nnyo, nebasaba Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- abaddukirire, omusajja omu muba Aniswaar naleeta ekitole kya feeza nga kizito nakissa mu maaso g'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ekyenyi kya Nabbi nekifa essanyu eringi ennyo nagamba nti:"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi ajja kufuna empeera yaayo, n'empeera z'oyo agikoleddeko okutuusa kulunaku lwenkomereroKitegeeza wano nti amakulu ga okutandikawo "kuteeka munkola mulimu" so ssi nti "atandikawo omulimu nga ateeka amateeka" nekiba nti amakulu ga:"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"Nti yenna assa munkola so ssi abaga amateeka kubanga okubaga amateeka (agago) kyaganibwa"Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze"
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi ajja kufuna empeera yaayo, n'empeera z'oyo agikoleddeko okutuusa kulunaku lwenkomerero
Kitegeeza wano nti amakulu ga okutandikawo "kuteeka munkola mulimu" so ssi nti "atandikawo omulimu nga ateeka amateeka" nekiba nti amakulu ga:
"Yenna atandikawo mubusiraamu enkola ennungi"
Nti yenna assa munkola so ssi abaga amateeka kubanga okubaga amateeka (agago) kyaganibwa
"Buli kyonna ekizuule (muddiini) bubuze"
Era tulina okumanya aboluganda nti okugoberera Nabbi tekusobola kutuukirira okujjako nga kukwataganye namateeka ga sharia mubintu mukaaga:
Ekisooka: Ensonga, singa omuntu yenna asinza Allah n'okusinza okuliranisiddwa n'ensonga etali yamateeka ga sharia, okwo kuba kuzuula nnyini kwo kumuddizibwa, eky'okulabirako kwekyo, mazima abantu abamu bafuula ebiro ekya abiri mu musanvu n'abiri mw'omunaana mu mwezi gwa Rajab ebiramu (basula basaala) nga bwekwasa nti ebiri ebyo Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mweyatwalirwa muggulu (Isra-e wali miiraaje), okusaala ekiro kusinza naye olwokuba nti kulinaanisiddwa ensonga eyo kikufuula okuzuula (bidiat) kubanga okusinza okwo kuzimbiddwa kunsonga etaliiwo mu mateeka, n'ekitendo ekyo ekyokukwatagana kw'okusinza kwonna n'amateeka munsonga, kintu kikulu nnyo tumanya nayo okuzuula kungi mwebyo abantu byebasuubira nti biri munkola ya Nabbi ate nga tebiri muyo
Ekyokubiri: Ekikula, okusinza kwonna kuteekeddwa okukwatagana namateeka (sharia) mukikula kyayo, singa omuntu yenna asinza Allah n'okusinza kwatalagira kikula kyakwo, tekukkirizibwa. eky'okulabirako kwekyo, Omuntu okusala embalaasi dhuhiya, dhuhiya jasaze tekkirizibwa; kubanga ayawukanye ku sharia mukikula (kyekyo kyasaze) dhuhiya tebeera okujja munsollo eziriibwa nga engamiya, ente embuzi oba endiga
Eky'okusatu: Ekigero, singa omuntu ayagala okwongeramu eswalah nga alaba nti yatteeka (yalaalikibwa): tugamba nti: Okwo kuzuula tekukkirizibwa, kubanga kwawukana ne sharia mukigero, neky'okulabirako ekisinga obulungi singa omuntu tugeze asadde dhuhr eraka'a taano (mukifo kyennya) mazima okusaala kwe tekukkirizibwa fenna tukyegattako
Ekyokuna: Enkola, singa omuntu afuna wudhu natandikira kukunaaba maguluge, oluvannyuma nasiiga mu mutwe, oluvannyuma nanaaba emikono gye, oluvannyuma nanaaba mukyenyi, tugamba nti, wudhu ye nfu; kubanga eyawukanye ku sharia munkola
Ekyokutaano: Ekiseera, singa omuntu asala dhuhiya munnaku ezisooka mumwezi gwa dhul-hijja, dhuhiya gyasaze tekkirizibwa olwokwawukana ne sharia mukiseera, nawulira nti abantu abamu mu mwezi gwa Ramadhan basala embuzi nga basembera eri Allah n'okusala okwo, ekikolwa ekyo mumbeera eyo kuzuula (muddiini; kubanga teri kusala kusemberwa nakwo eri Allah okujjako dhuhiya, ne hadiyi (eri abo abali mumikola gya hijja) ne akiika, naye okusala mu ramadhan nga okakasa nti kulimu empeera nga ez'okusala ku Iddi adhuha, kuzuula, wabula kwo okusala olwokwagala okulya kunnyama kukkirizibwa
Ekyomukaaga: Ekifo, singa mazima omuntu atuula Itikaafu mugutali muzikiti, mazima itikaafu ye eyo teba ntuufu, nabwekityo kubanga itikaafu tetuulibwa okujjako mu mizikiti, era singa omukyala agamba nti njagala kutuula itikaafu mukifo ekisaalibwamu munyumba, itikaafu ye si ntuufu; kubanga eyawuna ne sharia mukifo, nebimu kubyokulabirako, singa mazima omuntu ayagala okwetooloola naye naasanga matwaafu (olujja lwa kaaba/ awetooloolerwa) nga wafunze nasanga nga nawalinaanye nawo wafunze, nasalwo okwetooloolera emabega w'omuzikiti, okwetooloolakwe tekuba kutuufu; kubanga mazima ekifo awetooloolerwa ye kaaba, Allah yagamba Nabbi Ibrahiim nfanfa we
﴿وَإِذۡ بَوَّأۡنَا لِإِبۡرَٰهِيمَ مَكَانَ ٱلۡبَيۡتِ أَن لَّا تُشۡرِكۡ بِي شَيۡـٔٗا وَطَهِّرۡ بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡقَآئِمِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ٢٦﴾ [الحج: 26]
{Era tukuza ennyumba yange (Al-kaaba) ku lw'abagyetooloola}
Surat Hajji 26
Okusinza kwonna tekuba mulimu mulungi okujjako nga kutuukirizza obukwakkulizo bubiri
Akasooka: Okukola kulwa Allah, Akokubiri: Okugeberera, era nga nakwo tekutuukirira okujjako nabintu omukaaga bwetwogedde gyebuvuddeko
Mazima ngamba eri abo abagezesebwa n'okuzuula, bayinza okuba nti ebigendererwa byabwe birungi era nga bagaala bulungi, naye bwe mubanga mwagala bulungi, mbalayirira Allah nti teri kkubo dungi nga ekkubo lyabatukulembera abalongoofu -Allah yasiima kubo-
Baganda bange abebitiibwa, mwekwate kunkola y'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'amagego, era mugoberere ekkubo lwabatukerembere abalongoofu, mubeere kwebyo byebaaliko, era mutunule abaffe ekyo kirina kyekibakosa n'akamu
Mazima ddala nze ngamba: era nga nekingiriza eri Allah okwogera kyesiriinako kumanya, ngamba nti: mazima ojja kusanga abantu bangi mwabo abafaayo ennyo kubizuule nga bagayaavu okuteeka munkola ebyo ate ebyo sharia byeyakakasa ne sunnah za Nabbi (nti bituufu) bwebamala okukola ebizuule bwabwe obasanga bagayaavu nnyo mukola sunnah enkakafu, ebyo byonna bibala ebiva mu mubi obuli mukuzuula muddiini, obubi bwakyo kumitima bunene, era akabenje kaabwo kuddiini kanene, abantu tebayinza kuzuula muddiini ya Allah kintu kyonna okujjako nga balagajjalira sunnah ekikyifaanana, oba okusingawo, nga abamanyi abamu mubaatusooka bwebaayogera
Naye omuntu singa awulira nga mazima mugoberezi so ssi muteesi wamateeka, afuna olwekyo okutya okujjuvu, n'obugonvu, n'okwekkakkanya, n'okusinza Omulezi webitonde byonna, n'okugoberera okujjuvu eri Imaam wabatya Allah, era omukulembeze wababaka,era Omubaka w'Omulezi webitonde byonna Muhammadi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye-
Mazima njolekeza okuwabula kwange n'okubuulira eri baganda bange abasiraamu abalungiya ekintu kyonna ekizuule, sinsonga mwebyo ebikwata ku bwennyina bwa Allah, oba ku mannya ge, oba kubitendo bye, oba kubikwata ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'okumugulumiza, batye Allah baleke ekintu ekyo, era bafuule ensonga zaabwe zonna nga zizimbiddwa ku kugobera (enkola n'obuufu bwa Nabbi) so ssi ku kuzuula (nakugujaawo byabwe byebaagala) era babizimbire ku kukola kulwa Allah nakumwawula so ssi ku kumagattako, era zibeere ku sunnah so ssi ku kuzuula, kubuli Omusaasizi kyayagala so ssi ku sitaani kyayagala, era batunuurire biki ebituuka kumitima gyabwe mu mirembe, n'obulamu, n'obutebenkevu, n'okuwummula kwebiriwoozo, n'ekitangaala ekyamaanyi
Nsaba Allah owekitiibwa atufuule abalunngamu abalunngamya, era abakulembeze abalongoosa, era atangaaze emitima gyaffe n'obukkiriza n'okumanya, era aleme kufuula byetuyize kabi gyetuli, era atukwase ekkubo lyabaddube abakkiriza, atuteeke mubaagalwabe abamutya nemujje lye eryokwesiima, Nsaba Allah asse okusaasira n’emirembe ku Nabbi we Muhammad (s.a.w) n’abantu b’enyumba ye ne ba Swahaaba be bonna