Seeka yafulumira mu yunivasite yobusiraamu eyitibwa Imamu Muhammad bin Su'ud (e riyadh) ne diguli mu mateeka g'obusiraamu, era mukisera kino musomesa mu ttendekero lya Ma'had Madina Almunawwara mu Uganda
Nuuhu Uthman Kibuuka: Mukoowoze(oba muwalimu) munnayuganda, ayina diguli mu mateeka g'obusiraamu okuva mu ttabi lya yunivasite y'obusiraamu eyitibwa Imamu muhammad bin su'ud mukitundu kya "Ra'si alkhaima" mu United Arab Emirates.
Ibrahim Ali Kyobe: Mukoowoze okudda eri Allah omunnayuganda, ayina diguli mu mateeka g'obusiraamu okuva mu yunivasite y'obusiraamu mu uganda(I.U.IU)
Naaswir mutabani wa Ali Alqitwaami, nzaalwa ya mukibuga kya Riyadh. Okusoma kwe: Diguli mu misomo gy'obusiraamu. Mukiseera kino asoma masters mu misomo gya kulaani