Nuuhu Uthman Kibuuka: Mukoowoze(oba muwalimu) munnayuganda, ayina diguli mu mateeka g'obusiraamu okuva mu ttabi lya yunivasite y'obusiraamu eyitibwa Imamu muhammad bin su'ud mukitundu kya "Ra'si alkhaima" mu United Arab Emirates.
Musomi omu Algeria, era alina ekitabo kya kulaani ekyesigamwako mu ministule y'ensonga z'eddiini mu Algeria ku nsoma ya warsh gyeyajja ku naafi'i mu lunyiriri lwa Aswbahaani
Sa'ad ibn sa'id Alghamidi, Musomi mwatikirivu, wa ddoboozi ssuffu, imamu era musomi wa kutuba mu muzikiti kaanu, e dammam mu Saudi. Era y'akulira ettendekero lya imamu Shaatwibi elisomesa kulaani mu dammam.
Seeka yafulumira mu yunivasite yobusiraamu eyitibwa Imamu Muhammad bin Su'ud (e riyadh) ne diguli mu mateeka g'obusiraamu, era mukisera kino musomesa mu ttendekero lya Ma'had Madina Almunawwara mu Uganda
Ayina diguli ya "usul diini" (oba ebyesigamwako eddiini) okuva mu yunivasite y'obusiraamu e madina, era mukiseera kino musomesa era akoowola okudda eri Allah mu uganda.