Sa'ad ibn sa'id Alghamidi, Musomi mwatikirivu, wa ddoboozi ssuffu, imamu era musomi wa kutuba mu muzikiti kaanu, e dammam mu Saudi. Era y'akulira ettendekero lya imamu Shaatwibi elisomesa kulaani mu dammam.
Abdul Aziiz ibn Abdallah ibn Baaz, yali mufti omukulu owa Saudi Arabia, nga yakulira akakiiko ak'abamanyi abakulu, yazaalibwa mu dhul hijja omwaka 1330 A.H mu Riyadh, Yafa -Allah amusaasire- nga swala ya fajiri ebulako katono okuyingira nga 27/1/1420 A.H, era omukutu gwa seeka gwe: www.binbaz.org.sa