Yannyonnyola Shk. Ekigendererwa mulunaku lwejjuma nensonga lwaki lwatuumibwa bwelutyo, nayogera ebimu ku birungi byalwo: Allah lweyakunganyizaako Nabbi Adam, era nti ye Eid ya buli sande, era Allah yalaganyisa empeera ennene eri oyo akeera mu Juma, n’abasoma surat Al kahaf, neri oyo asaalira Nabbi (s.a.w) mulwo
Yannyonnyola Shk. Amakulu gobulombolombo bwe swala, eri nti eswala y’omuntu tetuuka nga tabutuukirizza, era nga buli butaano: Okuyingira kwebiseera bwayo, okwewala obukyafu/ okwetukuza (omubiri ne kifo), okwolekera ekibula, okumalirira