Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri buli musiraamu ayagala obuwanguzi okulongoosa obusiraamu bwe nga akola ebyo ebyamulagirwa era n’okulekayo ebyobujeemu.
Yannyonnyola Shk. Amakulu g’ebyonoono ebinene, nenjawulo wakati wabyo nebitono, era nti mubinene mulimu ebikira kubinnaabyo okugeza nga okwenda ku mukyala wamulirwana, n’okubba munju yamulirwana nebirala.
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar Ndawula era nga yannyonnyolemu hadiith ya Nabbi (s.a.w) “nti teri muntu yenna okujjako nga alina abemikwano basatu: Owomukwano akugamba nti ndi wamu naawe twala kyonna kyoyagala ebbanga lyemba nga wendi, eyo ye mmaali yo,