Omusomo guno gulina ebitundu bibiri, gwasomesebwa Shk. Quraish Mazinga ne Shk. Abdulrahmaan mukisa era nga bannyonnyola mugwo obulamu bwa Abu Twalib nengeri gyeyayambamu Nabbi (s.a.w) ne nfa ye n’ebyokuyiga ebigirimu
Yannyonnyola Shk. Nti enjawulo eyamaanyi wakati w’omuntu n’ebisolo ge magezi, era Allah yasukkulumya omuntu n’amagezi kubitonde ebirala, Oyo yenna atakozesa magezi ge kwawula Allah, ebisolo bimusinga
Yannyonnyola shk. Nti ekigendererwa ekikulu mumirimu gya Hijja kutongoza nakwawula Allah era nti ebifo byonna ebya hijja ne mirimu gyamu byeyawulidde kusiinzizaamu Allah era nti teri n’omu akkirizibwa kweterawo mizizo mubifo oba mumirimu okufaanaanako nga bwekiri mu Hijja kubanga ebyo byeyawulidde mukusiinza Allah.