Yannyonnyola shk. Mumusomo guno amakulu g’okwawula allah mukusiinza, n’obukulu bwako, n’enjawulo wakatiiwe n’okwawula Allah mubulezi bwe, era nti Tawuhiid al Uluuhiyya yayawula wakati wabasiraamu n’abakafiir.
Yannyonnyola shk. Amakulu g’omulezi nebivunaanyizibwa bwakyo, nayogera obubenje bwa shirk obuna era nga bwebuno: Yenna agatta ku Allah (shirk omunene) afuluma mubusiraamu, era nemirimu gye gisazibwamu, era yenna afiira ku shirki nga teyenyezza Allah tajja kumusonyiwa, era Allah yaziyiza kuye okuyingira ejjana.
Yannyonnyo Shk. Ekigendererwa mubyonoona obusiraamu, n’obukulu bwokubimanya, era nabitekululamu emiteeko ena naye nayogerako bibiri: okwebigambo nga okuvuma Allah nomubaka we, n’okwebikolwa nga okuvunnamira oba okusalira ekitali Allah nebirala ebiringa ebyo.