Yannyonnyo Shk. Ekigendererwa mubyonoona obusiraamu, n’obukulu bwokubimanya, era nabitekululamu emiteeko ena naye nayogerako bibiri: okwebigambo nga okuvuma Allah nomubaka we, n’okwebikolwa nga okuvunnamira oba okusalira ekitali Allah nebirala ebiringa ebyo.
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Muhammad mazinga ne Shk. Abdulrahmaan Mukisa era nga baasomesa mugwo amakulu g’obushi’a enzikiriza yabwe nobubi bwayo eri Ummah eno.
Yannyonnyola shk. Nti obusiraamu buyimiriddewo kukwawula allah mubutuufu bwokumwawula, n’okukulera kubivunanyizibwa bwokumwawula, nokkowoola abantu jekuli nga nabi bweyali akola nga enkola ya ibrahiimu bweyali, n’okulwanyisa byonna ebisinzibwa ebitali allah
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti enkomerero y’obulamu kufa, era nti omuddu oluvannyuma lw’okufa alina ekimu kubifo ebibiri ejannah oba omuliro, era nakubiriza abasiraamu okwetegekera olunaku lwe baliva mubulamu bwensi.
Omusomo guno gulina ebitundu bibiri, gwasomesebwa Shk. Quraish Mazinga ne Shk. Abdulrahmaan mukisa era nga bannyonnyola mugwo obulamu bwa Abu Twalib nengeri gyeyayambamu Nabbi (s.a.w) ne nfa ye n’ebyokuyiga ebigirimu
Yannyonnyola shk. Nti ekigendererwa ekikulu mumirimu gya Hijja kutongoza nakwawula Allah era nti ebifo byonna ebya hijja ne mirimu gyamu byeyawulidde kusiinzizaamu Allah era nti teri n’omu akkirizibwa kweterawo mizizo mubifo oba mumirimu okufaanaanako nga bwekiri mu Hijja kubanga ebyo byeyawulidde mukusiinza Allah.