106 - Quraish ()

|

(1) 1. Ku lw'empangaala ya ba Kuraish.

(2) 2. Empangaala yaabwe eyalimu okutambula engendo mu butiti ne mu kyeya.

(3) 3. Bateekwa basinze Katonda nannyini nyumba eno (Kaaba).

(4) 4. Katonda eyabawa eby'okulya, n’abawonya enjala, n’abawa e mirembe, ne bataba mu kutya.