(1) 1. Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun.
(2) 2. Era ndayira olusozi lw’e Sinai.
(3) 3. Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe
(4) 4. Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi.
(5) 5. Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo.
(6) 6. Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo.
(7) 7. Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero.
(8) 8. Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima!?.