(1) 1. Ndayira omulembe (buli mulembe)
(2) 2. Mazima ddala omuntu yenna gy’afa yenkana ali mu kufaafaaganirwa.
(3) 3. Okugyako abo abakkiriza Katonda (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima (mu bulamu bwabwe bwonna) era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza (mu bulamu bwabwe bwonna).