107 - Al-Maa'un ()

|

(1) 1. Olabye oyo alimbisa olunaku lw'enkomerero.

(2) 2. Oyo nno y’oyo awalagganya ba mulekwa.

(3) 3. Era nga takubiriza kuliisa banaku.

(4) 4. Okubonaabona kuli ku abo abasaala,

(5) 5. Nga balagajjalira e sswala zaabwe.

(6) 6. Abo abakola bandabe.

(7) 7. Era abamma bannaabwe ebintu ebitasaana kumma.