111 - Al-Masad ()

|

(1) 1. Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira.

(2) 2. Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa).

(3) 3. Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja.

(4) 4. Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo).

(5) 5. Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange.