Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Abdallah Al huthairy, eri ba Imaam ne be badua’t e Uganda, era nga yannyonnyola mugwo obukulu bwokkowoola eri Allah, oluvannyuma nayogera ebimu ku bitendo byoyo akawoola eri Allah, nga okwesibirira okumanya kwa sharia, nebikuirikiriza, obuguminkiriza, nokwetikka obuvunanyizibwa, okkozesa amagezi, nokwekwata ku Qur’aan ne sunna, nokwewala enjawukana.
Khutuba eno yasomebwa Dr. Yahya ssemuddu era nga yannyonnyoleramu amakulu ga A’ya eno “Mwekwate ku muguwa gwa Allah mwena wamu temwawukananga” nagerageranya embeera abasiraamu zebalimu olwaleero nenga Nabbi tannatumwa, nabutya Nabbi bweyagatta wakati wabwe, nakubiriza abasiraamu okwenyeza kubumu era obutayawukana