Mu musomo guno Shk. Yannyonnyola akabi akali mu kukaafulira ebyengera bya Allah, nayogera ekyafaayo kyabasajja ababiri mu surat Qahf, omugagga yali nga akudaalira omwavu
Yannyonnyola Shk. Amakulu ga bidia (ekizuule mu ddiini) mu mateeka, nokulamula kwe, nobuwufu bwe eri omuntu, oluvannyuma nayogera nti minzaane ya bidia eri kubintu bisatu: 1: Okubanga kintu kigunjiddwa mu ddiini, 2: Okuba nga kirina kyekifaanana mu Sharia, 3: Okuba nga kigendererwamu kusiinza
Yannyonnyola Shk. Obukulu n’obulungi bwa Ath’kaar nga esswala ewedde nengeri gyeziretebwaamu, era nayogera nti tezireetebwa mulwatu wabula mukyama era nga bweri enkola ku Ath’kaar nga tuwerekera jeneza