Yannyonnyo Shk. Ekigendererwa mubyonoona obusiraamu, n’obukulu bwokubimanya, era nabitekululamu emiteeko ena naye nayogerako bibiri: okwebigambo nga okuvuma Allah nomubaka we, n’okwebikolwa nga okuvunnamira oba okusalira ekitali Allah nebirala ebiringa ebyo.
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Muhammad mazinga ne Shk. Abdulrahmaan Mukisa era nga baasomesa mugwo amakulu g’obushi’a enzikiriza yabwe nobubi bwayo eri Ummah eno.
Yannyonnyola Shk. Ekigendererwa mulunaku lwejjuma nensonga lwaki lwatuumibwa bwelutyo, nayogera ebimu ku birungi byalwo: Allah lweyakunganyizaako Nabbi Adam, era nti ye Eid ya buli sande, era Allah yalaganyisa empeera ennene eri oyo akeera mu Juma, n’abasoma surat Al kahaf, neri oyo asaalira Nabbi (s.a.w) mulwo