Yazimbira Shk. Omusomo guno ku Hadiith ya Nabbi (s.a.w) egamba nti: Omuntu yenna Akakasa nti tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah era nti ne Muhammad muddu we era mubaka we, ne Isa muddu we era mubaka we, era kyegigambo kye kyeyassa ku Mariam, nti n’omuliro gwa mazima, ne Jjana yamazima, Allah amuyingiza e Jjana ne mirimu gye nga bwegiri
Yannyonnyola shk. Nti obusiraamu buyimiriddewo kukwawula allah mubutuufu bwokumwawula, n’okukulera kubivunanyizibwa bwokumwawula, nokkowoola abantu jekuli nga nabi bweyali akola nga enkola ya ibrahiimu bweyali, n’okulwanyisa byonna ebisinzibwa ebitali allah
Yannyonnyola shk. Nti allah yatuma ababaka basomese abantu okwawula allah, nabutya bwebalina okumusinza, era babannyonnyole empeera yooyo akkiriza allah era namugondera, neyooyo amukafuwalira n’amujemera
Yannyonnyola shk. Nti okukola ibaada kulwa allah kiri mukwawula allah, era nti yemu kunsonga ezigenda okkuwonya okuyingirira omuliro, era obuufu bwebyo ebikoleddwa kulwa allah byakusigalawo, era bikuyunga eri allah
Shk. Yannyonnyola nti obusiraamu bwava eri allah owekitiibwa era nti buli kikwatagana naye kirina kuba kyakitiibwa, era nga ebuna etuukagana nabuli mulembe nekifo
Yannyonnyola shk. Nti buli musiraamu alina okumanya nti allah yemutonzi omugabirizi, era nti yenna ayawula allah n’agondera omubaka takkirizibwa kusembeza balwanyisa allah n’omubaka we, era nti allah tayagala kumugattako kintu kyonna.