Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno empisa omusiraamu z’atekeddwa okuba nazo, era nti obusiraamu bukyusa empisa n’ebikolwa by’omuntu, era nti walina okubaawo enjawulo wakati w’omusiraamu natali musiraamu.
Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri buli musiraamu ayagala obuwanguzi okulongoosa obusiraamu bwe nga akola ebyo ebyamulagirwa era n’okulekayo ebyobujeemu.
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar Ndawula era nga yannyonnyolemu hadiith ya Nabbi (s.a.w) “nti teri muntu yenna okujjako nga alina abemikwano basatu: Owomukwano akugamba nti ndi wamu naawe twala kyonna kyoyagala ebbanga lyemba nga wendi, eyo ye mmaali yo,
Yannyonnyola Shk. Ekigendrerwa mu mpisa ennungi, ekifo, obukulu, nobulungi bwazo mubusiraamu, era nti muzo mulimu ez’obutonde n’omuntu zafuna obufunyi, era nti kigwanidde eri buli musiraamu okwelwanako okulaba nga alongoosa empisa ze
Follow us: