Yannyonnyola shk. Nti okukola ibaada kulwa allah kiri mukwawula allah, era nti yemu kunsonga ezigenda okkuwonya okuyingirira omuliro, era obuufu bwebyo ebikoleddwa kulwa allah byakusigalawo, era bikuyunga eri allah
EKITABO KINO KIKWATA KUNZIKIRIZA, SHK. YANNYONNYOLA MUKYO NTI ALLAH YEKKA YATEEKEDDWA OKUSIINZIBWA, NANNYONNYOLA N’AMAKULU GA SHAHAADA NEMPAGI ZAAYO, N’OBUDDO BWABASHIRIKU.
Yannyonnyola shk. nti ensonga satu kabonero akalaga nti ogulumiza allah: okuwa ekitiibwa omukadde omusiraamu, n’omuntu eyakwata quran nga tasukka kikomo mukugiteeka munkola era nga tagyesamba, n’okuwa ekitiibwa omukulembeze omwenkanya.
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti omuddu yenna singa alongoosa enniya ye nassaayo ebirowoozo kwekyo kyakola, Allah amuteeramu obwangu, nemikisa era abeera mukubo lya Allah. Era n’akola ekyennyume kyekyo abeera mu kubo lya Sitaani
Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Yahya Ssemuddu, era nga yannyonnyola mugwo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu, era nti Nabbi yali kyakulabirako kirungi eri obulamu bw’omusiraamu, era n’ayogera ebivunaanyizibwa by’omuntu eri Allah we, n’eri Nabbi, eri omwogwe n’abantu be, n’eri abantu banne nebazadde be.
Follow us: