Yannyonnyola shk. Nti ekigendererwa ekikulu mumirimu gya Hijja kutongoza nakwawula Allah era nti ebifo byonna ebya hijja ne mirimu gyamu byeyawulidde kusiinzizaamu Allah era nti teri n’omu akkirizibwa kweterawo mizizo mubifo oba mumirimu okufaanaanako nga bwekiri mu Hijja kubanga ebyo byeyawulidde mukusiinza Allah.
Yannyonnyola shk. Amakulu g’ebyetteeka mu hijja, nenjawulo eri wakati wempagi za hijja nebyetteeka muyo, olunnyuma nannyonnyola ebyetteeka mu hijja omusaanvu
Yannyonnyola shk. Ekigendererwa mumpagi za hijja n’obukulu bwazo, oluvannyuma nayogera empagi za hijja ennya era nga zezino: okumalirila okuyingira mumikolo gyahijja (al ihiraamu), okwetoloola kaaba, okutaambula wakati wa swafa ne maruwa, n’okuyimirira mu arafat.
Follow us: