Yannyonnyola shk. Nti allah yatuma ababaka basomese abantu okwawula allah, nabutya bwebalina okumusinza, era babannyonnyole empeera yooyo akkiriza allah era namugondera, neyooyo amukafuwalira n’amujemera
Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Yahya Ssemuddu, era nga yannyonnyola mugwo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu, era nti Nabbi yali kyakulabirako kirungi eri obulamu bw’omusiraamu, era n’ayogera ebivunaanyizibwa by’omuntu eri Allah we, n’eri Nabbi, eri omwogwe n’abantu be, n’eri abantu banne nebazadde be.
Shk. Yesigamiza omusomo guno ku hadith ya nabbi (s.a.w) egamba nti ‘mulagire abaana bamwe okusaala nga balina emyaka musaanvu era mubakubemu - olwo kujireka- nga bawezezza emyaka kumi, mubaawule nemubisulo’
Shk. Yatambuliza omusomo guno kukyafaayo kya nabbi muusa (a.s.w) ne falaawo, nannyonnyola nti allah yalindikiriza falaawo ekiseera kinene nnyo kubanga ye allah mukwatampola kwekyo kyayagala
Follow us: