Emiteeko

معلومات المواد باللغة العربية

Classification Tree

omuwendo gw'ebintu: 249

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Yahya Ramadhan Mwanje Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Yahya Mwanje, era nga yannyonnyola mugwo amakulu ge kigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: “Ayi Allah tewali amma oyo gwoba owadde, era tewali awa oyo gwoba ommye, era ntiebyo byonna biriwo kubwenkanya bwe n’enkomerero ennungi eri abo abatya Allah.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Abubakar Sserunkuuma Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Abubakar Sserunkuuma era yannyonnyola mugwo ekifo, obukulu n’obulungi bwobuyonjo mu busiramu era nakubiriza abasiraamu okufaayo ennyo okukuuma obuyonjo

  • Oluganda

    MP3

    Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Mahmood Kibaate, era nga gulimu ebitundu bibiri, era yannyonnyola mugwo amakulu gebigambo ebirimu, n’amateeka agalimu nga amateeka g’okuwasa nagobusika, n’emigaso egikenenulwa muzo.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Mahamood Kibaate era nga yannyonnyola mubufunze obulamu bwa Nabbi, era nga Daawa ye yalimu emiteeko ebiri. 1:Daawa ye makka, era nga yalimu emitendera esatu, eyekyaama, eyolwaatu, nebweru wa makka, 2: Daawa ye madiina. Era nga buli kifo awa ebyoguyiga ebikenenulwamu

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Umar Swidiq Ndawula Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Shk. Yesigamiza omusomo guno ku Hadiith ya Abi Qabsha, yagamba: Nawulira omubaka wa Allah nga agamba nti: ‘ebintu bisatu mbilayirirako, era mbanyumiza hadiith mugikwate: 1:Emmaali y’omuddu tekendeera nakusaddaaka, 2: era omuddu tayinza kulyazamaanyizibwa kintu kyonna naguminkiriza okujjako nga Allah amwongera kitiibwa, 3: era omuddu tayinza kuggulawo mulyango gwakusabiriza okujjako nga Allah amuggulirawo omulyango gw’obwavu.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Umar Swidiq Ndawula Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Shk. Yesigamiza omusomo guno ku kyafaayo kya swahaaba ayitibwa Salimaan Alfaaris bweyali kundiri yokufa Saad namulambula namulaba nga akaaba…………………yatusuubiza natugamba nti kibamalire nga okukunganya munsi eno ekigerero ekyenkananga entanda yomutambuze………..

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Umar Swidiq Ndawula Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Ekigendrerwa mu mpisa ennungi, ekifo, obukulu, nobulungi bwazo mubusiraamu, era nti muzo mulimu ez’obutonde n’omuntu zafuna obufunyi, era nti kigwanidde eri buli musiraamu okwelwanako okulaba nga alongoosa empisa ze

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Nti Abasalaf bebaasinga mu bantu bonna okuguminkiriza nga bagezeseddwa nebakyaala babwe, olwokukuuma obufumbo, n’aleeta eby’okulabirako nga ekyafaayo kya Nabbi Nuuh nemukyalawe, ne Nabbi Luutu, era nti tekigwanidde eri omusiraamu yenna okwanguyiyiza okwawukana ne mukyalawe nga bafunye obutakkaanya

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk.enjatula ezikozesebwa mukuwoowa, obukulu bwazo n’engeri gyezikozesebwamu, n’okulamula ku kujulira mukuwasa, n’obukwakkulizo bw’abajulizi ababiri.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Yahya Ramadhan Mwanje Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Mu musomu guno amakulu ga halaal ne haraam, nenjawulo eri wakati wabyo, n’obukulu bwokubimanya, era nti ekiri halaal ekyo Allah kyeyafuula halaal, ne haraam kyekyo Allah kyeyafuula haraam, nakubiriza abasiraamu okufuula halaal Allah kyeyafuula halaal, n’okufuula haraam ekyo Allah kyeyafuula haraam

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ishaaq Uthuman Mayanja Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Engeri y’okusaalira kukyebagalwa, nalwaki kyakkirizibwa, nekigendererwa, mukugatta esswala, obukwakkulizo bwokugatta, noluvannyuma n’addamu ebibuuzo

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ishaaq Uthuman Mayanja Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Nti Nabbi (s.a.w) y’agaana okusaalira mubifo ebirimu ebifaananyi, era n’ayogera ebigambo byabamanyi bingi kunsonga eno, n’ensonga lwaki kyaziyizibwa, nokulamula kw’obusiraamu kukusaalira mu muzikiti ogulimu entaana

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ishaaq Uthuman Mayanja Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Amakulu gobulombolombo bwe swala, eri nti eswala y’omuntu tetuuka nga tabutuukirizza, era nga buli butaano: Okuyingira kwebiseera bwayo, okwewala obukyafu/ okwetukuza (omubiri ne kifo), okwolekera ekibula, okumalirira

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola shk. Amakulu ga Kusuufu, nalwaki esswala ya kusuufu yalaalikibwa, okulamula kwayo, n’ekifo kyayo mubusiraamu, n’engeri gy’esaalibwamu, era nti embeera eno gweba esaanzewo kimugwanidde okuyitiriza okkola emirimu emirungi

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola shk. Ezimu kunsobi abafumbu abamu zebwagwamu nga tebafuddeeyo songa ziviirako okutta obufumbo ezimu kuzo: obutaba namannya gemweeyita, okumutegeeza nti ogenda kuwasa ow’okubiri, obutafa kumukyala, n’obutamulabirira bulungi, obatazza bujja mukwano wakati waabwe, okusirikira obumogo obunene.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yazimbira Shk. Omusomo guno ku Hadiith ya Nabbi egamba nti “ Obusiraamu bwatandika nga bugenyi era bujja kuddayo nga bugenyi nga bwebwasooka, okwesiima kuli eri abo abagenyi, nannyonnyola amakulu gobugenyi n’omugenyi mu Hadiith eno, n’ebitendo by’abagenyi

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Abdulkariim Sentamu Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti kikakata eri buli muntu awerekera jeneza okubeera omusirise n’obutalabankana n’ebyo ebitalina mugaso, okusabira omufu Allah amunyweze naye nga kikolebwa mumakubo amatuufu, okulowooza ennyo kumbeera eyo ebeera eriwo, n’okukubagiza bannanyini mufu.

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA Omusomesa : Quraish Mazinga Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Amakulu ga twalaaqa, lwaki yakkirizibwa, ensonga ezigiviirako, enjogera zaayo, nemiteeko gyaajo

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : Ahmad Sulaiman Kyeyune Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu genjawukana, nabiki mwezigenda okubeera, nemiteeko gyazo era nakiki omusiraamu kya tekeddwa okkola singa enjawukana zibeera wo

  • Oluganda

    MP3

    Omusomesa : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA Omusomesa : Quraish Mazinga Okwekenneenya : FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

    Yannyonnyola shk. Nti ekigendererwa ekikulu mumirimu gya Hijja kutongoza nakwawula Allah era nti ebifo byonna ebya hijja ne mirimu gyamu byeyawulidde kusiinzizaamu Allah era nti teri n’omu akkirizibwa kweterawo mizizo mubifo oba mumirimu okufaanaanako nga bwekiri mu Hijja kubanga ebyo byeyawulidde mukusiinza Allah.